TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okukuza Ameefuga aga 57: Engeri embeera y’ebyokwerinda gy’ezze ekyuka bukya twefuga

Okukuza Ameefuga aga 57: Engeri embeera y’ebyokwerinda gy’ezze ekyuka bukya twefuga

By Musasi wa Bukedde

Added 9th October 2019

Nga tukuza emyaka 57 egy’ameefuga, tukubye ttooci mu byokwerinda.

Toko 703x422

Nga tukuza emyaka 57 egy’ameefuga, tukubye ttooci mu byokwerinda.

Haji Edrisa Sseddunga , akulira abaazirwanako: Emabegako nga tetunnafuna bwetwaze, Obwakabaka bwalina minisitule, gavumenti ezeebitundu, ebitongole eby’enjawulo okugeza, eky’ebyenjigiriza n’ebirala nga be beekolera ku bintu byabwe ng’abaamagombolola, amasaza, emiruka nga be bakola emirimu egyo. Obutemu buno obuzze olwaleero tebwaliwo.

Edda kwalinga kumenya mayumba n’ekigendererwa eky’okutwala ebintu ne ssente.

Awo ne waddawo ogwa kaamulali nga bayiira abantu naddala Abayindi kaamulali mu maaso ne bababba ssente n’emmaali.

TUFUNA OBWETWAZE

Ssekabaka Muteesa II ye yasooka okusaba okwetwala, Abazungu ne bamuwahhangusiza e Bungereza.

Waaliwo abasajja abaatandika okwegugunga nga battukiza ekya Ssekabaka Muteesa eky’okwefuga.

Muno mwalimu, Ignatius Musaazi, Muliira, omugenzi Kisekka, Naamwatulira Joseph n’abalala abaatuulanga mu muti gwabwe gwe baayitanga ‘Akati ak’eddembe’ akaalinga awo mu ppaaka Enkadde.

Omuzungu yagenda okulaba nga bimuzitooweredde kwe kusalawo okuta entebe. Kyokka, okwefuga bweyali akuleeta yasobya.

Yatutwala e Bungereza mu lukiiko lw’amawanga tukole ssemateeka anaatugatta.

Kabaka baamufuula pulezidenti ne bamulayiza kyokka mu kifo ky’okukwasa ffe abaali mu bukulembeze, ate ssemateeka baamukwasa Obote, eyali katikkiro ebiseera ebyo.

Wano baali ng’abakubira Obote paasi kubanga yatandika n’okwewaana nti, ‘bwennalaba akutte Bayibuli okulayira (ssekabaka) ne mmanya nti mmumaze’.

Kubanga yali amaze okumuggya mu bufuzi bw’ensikirano n’amuzza mu byobufuzi eby’olukale.

Obote yalumba Muteesa e Ntebe gye yali abeera nga pulezidenti okussa omukono ku kiwandiiko ekiwaayo amasaza ag’e Buyaga ne Bugangaizi, kyokka Muteesa n’agaana.

Ekyavaamu ne bamugoba e Ntebe n’adda e Makindye, nayo teyabandaalayo n’adda mu Lubiri olw’enkaayana ezaali zimaze okumerukawo.

Waaliwo omusajja eyali ava e Buddu eyaleeta ekiteeso nti gavumenti ya Uganda eve ku ttaka lya Buganda awo we waava entabwe era olutalo we lwatandikira.

Amin eyali akolera Obote mu kiseera ekyo yaduumira eggye eryawamba Kabaka. Kiwa mbabantu atan dika Muteesa okugenda, Obote yalangirira nti Obwakabaka mbuggyeewo.

Okuva olwo emirembe gyaggwaawo mu Uganda ne batusibira mu biseera eby’akabenje. Baatandika okuwamba abantu abalina n’abatalina musango nga babasiba.

Ebisanja bya Obote eby’emirundi ebiri byali bya bunkenke bwereere. Bano baayingiranga ne mu mayumba gaffe n’akola by’akoze ku mukyalawo kyokka nga n’abaana balala olumala ne yeetambulira kyokka nga tolina gy’omuwawaabira.

Mu September wa 1983 bampamba ne batubuzaawo ne bannange 34 ne batutwala e Kiboga.

Nabatolokerako mu kkubo. Abantu abalwanyisa gavumenti balina obukodyo bungi ne ku Amin mu 1973 bwe gwali.

Yali yaakatufugira emyaka nga mukaaga, abaali bamulwanyisa ne batandika okuwamba abantu batere babamukyayise.

Abantu nga Dr. Ssembeeguya gwe baggya e Kawempe ku ddwaaliro ne Ben Kiwanuka eyali omulamuzi wa Uganda omukulu gwe baggya mu kkooti, n’abalala tebaalutonda.

Ekiwambabantu wano we kyatandikira nga babateeka mu bbuutu z’emmotoka ne bababuzaawo.

Waalingawo n’ebifo bingi eby’akattiro ebyamiranga abantu okugeza, e Namanve awali amakolero ng’emirambo ogisanga giri eyo.

Gattako e Lwabenge mu ddungu, n’awalala. Haji Abdu Nadduli, minisita akola guno na guli: Mu 1955, Abazungu baafuuka abannanfuusi omwoyo gw’okukuza n’ogw’eddiini nga baguvuddeko bazze mu byabufuzi n’ebyenfuna.

Bwe baawahhangusa Muteesa mu 1953 twasaba tukole endagaano empya ng’egamba nti, byonna ebiragaaniddwa muno byakufugira emyaka mukaaga, bwe ginaggwaako nga Uganda yeefuga. Y’ensonga lwaki mu 1961/62 twafuna obwetwaze.

Kyennyamiza okulaba ng’oluvannyuma lw’okulafuubana okufuna okwefuga, ffe ng’Abaganda abaakola kaweefube ono tetwasiimibwa, okuggyako okutulaga enkwe ezaatwalizaamu n’okuwahhangusa Beene.

Obutabanguko obuliwo kati bw’atandikira mabega. Enjawulo eriwo eri nti, kati abatta n’okuwamba bannaabwe bakikozesa bukyayi.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.