TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tulina okukyusa Sseemateeka tulyoke tuganyulwe mu kwefuga

Tulina okukyusa Sseemateeka tulyoke tuganyulwe mu kwefuga

By Musasi wa Bukedde

Added 9th October 2019

Israel Mayengo; yali mubaka akiikirira ebizinga by’e Ssese: Okwefuga kwaffe okubaamu amakulu, nga tumaze kukyusa ssemateeka: Baddugavu bannaffe batuyisizza bubi nnyo okusinga Abazungu.

Beta 703x422

Mayengo

Omutemu bw’atemaatema abantu awaka tekyewuunyisa naye, ate omuntu w’omunju bw’atemaatema ab’omunju ekyo kyewuunyisa. Kino kye kiriwo wakati w’Abazungu n’Abaddugavu bannaffe.

Ebintu bingi ebizze bibaawo. Mu biseera ebyo okwogera ku kintu kye bayita ‘Safe house’, ng’abantu babuuza nti oba kye kiki ekyo? Kubanga tebyaliwo.

Kyokka oluvannyuma lw’emyaka emingi egiyiseewo, ‘Safe houses’ zifuuse ekintu eky’ejjenjeero.

Kye ssimanyi nti oba abaaziteekawo baalina kigendererwa ki? Kubanga teri agendayo n’avaayo nga tatulugunyiziddwa. Enjawulo nti ebikolebwayo bye bikyuka mu bukambwe.

Nzijukira waliwo munaffe eyafa eyali owa Uganda patriotic movement (UPM) baamuyitanga Bakulu Mpagi Wamala, Obote yamusibira mu kaduukulu k’e Makindye n’atulugunyizibwa nnyo era okwo kwe kwava obulwadde obwamutta.

Kyokka bwe yali afa, yasaba pulezidenti Museveni mu 1987, nti aggyewo akaduukulu kano naye kyewuunyisa nti nakati kakyaliwo era kakyakolera ddala ng’edda oba n’okusingawo.

Nze mu 1976 bansibira obwemage mu kaduukulu keekamu okumala ssabbiiti bbiri namba.

Baali banvunaana kuwawaabira mujaasi eyali yeegombye emmotoka yange n’agitwala mu lukujjukujju.

Bwe baamutuusa e Makindye, omusirikale eyali akulirayo ayitibwa Gen. Mududu, yantumya nga ndowooza nti hhenze kukima mmotoka yange kumbe bankutte era nze gwe baasiba nga banvunaana okwonoona erinnya ly’amagye. Bw’etyo emmotoka yange n’erugenda ate nange ne nsibwa.

Okuva mu 1966, teri gavumenti ezze mu bukulembeze bwa Uganda na mirembe, bonna bajjira mu ntalo ze bayita ez’okwenunula.

OBUZIBU BUVA WA?

Obuzibu buva ku Ssemateeka.

Ensi eno okulaba nti eteredde n’okubaako enkulaakulana eyannamaddala, Ssemateeka waffe alina kumala kukolebwamu nnoongoosereza, mu katundu akakwata ku gavumenti ne ofiisi y’obwapulezidenti eggalwewo kubanga y’ensibuko y’ennaku ya Uganda yonna.

Tubeere n’akakiiko akafuzi ak’abantu bana ng’omu ava mu mambuka, omulala mu Buganda, ow’e Buvanjuba n’obugwanjuba.

Abantu bano babeere n’ekisanja kya myaka ena kyokka, nga buly’omu abeerako ssentebe w’akakiiko kano okumala omwaka gumugumu. Ekirala, Uganda okutereera ng’olutalo lw’okulwanyisa Buganda luwedde.

Essira nze ndaba ng’ery’okunyigiriza Buganda kumpi eggweewo. Eky’okulabirako kya ttaka, Abaganda abalina ettaka mu Buganda kati batono ddala okusinga abo abalirina nga si Baganda, ekitaaliwo mabega.

Edda Abaganda baali bakulembedde ebintu bingi nnyo naye kati baabazza mabega. Osanga ebitongole ebimu mu Uganda ne weewuunya oba ddala kiri mu Buganda.

Ekirala, emu ku nsibuko y’ebizibu bya Uganda ly’ettaka nga n’obukuubagano bw’ettaka obusinga buli wano mu Buganda kyokka, osanga ekitongole ekikola ku by’ettaka ekya Uganda Land Commission, nga tekiriiko muganda n’omu.

Bwe tunazza obukulembeze mu kakiiko akataliiko kugamba nti muntu omu y’alina obuyinza obw’enkomeredde, kijja kuyamba kuba tewajja kubeerawo kitundu kimu kirinnyirira binnewaakyo.

Era, n’ebiragiro ebimu ng’ekyokutuma mukulu w’amagye nti genda olumbe olubiri lw’e Mengo, tebyandibaddewo.

N’ebyali e Lwenzuluulu tebyandibaddewo kubanga abantu abali abana bonna bandibadde bamala kukkaanya ku kyo, ekitali kyangu.

Tulina okukyusa Sseemateeka tulyoke tuganyulwe mu kwefuga Haji Sseddunga Minisita Nadduli Mayengo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.