TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enfa ya mwannyina wa Fr. Musaala etabudde aba ffamire

Enfa ya mwannyina wa Fr. Musaala etabudde aba ffamire

By Joseph Makumbi

Added 10th October 2019

Fr. Anthony Musaala ali mu lusirika mu Australia gye yagenda kati omwezi gumu oguyise, mu bubaka bwe yaweerezza abantu abaasigala mu nju ye e Luteete ku luguudo lw’e Gayaza yagambye nti, mwannyina tabadde mulwadde era tamanyi ngeri gye yafudde.

Chritinemusaaala 703x422

Omugenzi Christine Musaala.

Bya JOSEPH MAKUMBI
 
ENFA ya mwannyina Fr. Anthony Musaala eyafiiridde mu kibuga Kent, e Bungereza etabudde aba famire.
 
Christine Musaala adda ku Fr. Musaala yafudde ku Lwakuna lwa wiiki ewedde mu ngeri etennategeerekeka nga yafiiridde mu supermarket gye yagenze okugula ebintu.
 
 aaza usaala Faaza Musaala

Omulambo gwe, gwalabiddwa abantu abalala abaabadde bagenze okugula ebintu wabweru wa Supermarket ne bakubira poliisi y’omu kibuga Kent eyagukimye n’okwekebejja ekifo we yafiiridde okuzuula oba waabaddewo ensiitaano yonna.

Fr. Anthony Musaala ali mu lusirika mu Australia gye yagenda kati omwezi gumu oguyise, mu bubaka bwe yaweerezza abantu abaasigala mu nju ye e Luteete ku luguudo lw’e Gayaza yagambye nti, mwannyina tabadde mulwadde era tamanyi ngeri gye yafudde.
 
Okuzuula nti Christine Musaala yafudde, abaana be Christopher Kalibbala n’omulala gwe twategeddeko erya Mugagga, baamaze kugenda waka w’abadde asula mu katawuni k’e Gillingham mu kibuga Kent mu buvanjuba bw’obukiika ddyo bwa Bungereza nga bamunoonya n’ababula.
Bano, baasoose kukuba ku ssimu ye nga tebamufuna wiiki nnamba kwe kusalawo okugenda mu maka ge gy’abadde asula bamunoonyeyo baliraanwa ne babategeeza nti, poliisi yabadde nayo enoonya abooluganda lwe gye bali ne babalagira okugenda ku poliisi okutegeera ebisingawo.
 
Musaala yagambye nti, abaana bwe baagenze ku poliisi, gye baabategeerezza nti, waliwo omuntu eyafa ku supermarket wabula omulambo gwe gukyabuzeeko abantu baagwo ne babatwala ewa Coroner (mu ggwanika) era ne bakakasa nti ye nnyaabwe.
 
Charles Ssemakula Golooba kkojja w’omugenzi yagambye nti, abaana bwe baakakasizza nti ye nnyaabwe, abasawo ne babasaba okubagumiikirizaako bamalirize okunoonyereza kwabwe balyoke babawe ebbaluwa eraga ekyavuddeko okufa kwe.
 
Ssemakula yagambye nti, Christine Musaala yazaalibwa Bungereza era abadde mutuuze waayo. Ono yali yafumbirwa Kiwanuka eyaakafa nga baalina abaana babiri.
 
Yagasseeko nti, balindirira ekigenda okuva e Bungereza oba omulambo gunaakomezebwawo oba okusigalayo kubanga kyetaagisa ssente nnyingi okutambuza omulambo okuguzza.
 
Christine Musaala, abadde munnamateeka era yakolako mu Gavumenti ya Bungereza n’abivaamu n’atandika okusomesa amateeka mu matendekero aga wansi e Bungereza.
 
Ennaku zino abadde yabivaako okuva lwe yafuna akabenje.
 
Era abadde mmemba ku lukiiko lwa Kabaka Foundation ate nga muwagizi wa DP lukulwe.
 
Kitaawe ye mugenzi Paul Mulagiriza Musaala ate nnyina ye yali Josephine Namakula Muyinda abaali babeera e Bungereza wabula ne bakomawo e Uganda ye naasigalayo.
 
Fr. Musaala yagambye nti, buli lw’abadde akyala e Bungereza, abadde asula mu maka ga mwannyina era n’agamba nti, embeera gyalimu yakazigizigi era yeetaaga ssaala.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.