TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lwaki Rema emikolo agitutte wa mugenzi Mabiriizi

Lwaki Rema emikolo agitutte wa mugenzi Mabiriizi

By Josephat Sseguya

Added 10th October 2019

Gwe gukulembedde okwanjula okulibaawo nga November 14, e Nabbingo ku lw’e Masaka.

Mabiriizi1 703x422

Bamaama ba Rema ne muwala waabwe (wakati). Ku kkono ye Winnie Mabiriizi, awaabadde omukolo.

Bya Josephat Seguya, Joseph Mutebi ne Martin Ndijjo
 
Rema Namakula yayanirizza Dr. Hamza Sebunya ewa ssenga n’amugamba: Hamza mukwano gwange, omwagalwa wange era taata wange; weebale kunnaaza maziga.
 
Sebunya yakyadde ewa ssenga wa Rema ayitibwa Sarah Nabatanzi ku mukolo ogwabadde mu maka g’omugenzi Godfrey Mabiriizi e Nagulu.
 
Muka Mabiriizi, Winnie Nakyejwe yategeezezza Bukedde nti muganda wa maama wa Rema ekitegeeza Rema muwala we yennyini.
 
Ssenga yasazeewo omukolo gubeere wano. Gwabadde mukolo gwa kitiibwa
oguyinza okugeraageranyizibwa ku mbaga.
 
Gwe gukulembedde okwanjula okulibaawo nga November 14, e Nabbingo ku lw’e Masaka.
 akkiddaawo ngakulembeddemu okutwala ebirabo Bakkiddaawo ng’akulembeddemu okutwala ebirabo.

 

 
Sebunya yasimbudde ku Hotel Africana ng’ali n’ebikonge okuli Godfrey Kirumira ne mukazi we Grace Namara, Freeman Kiyimba, John Bagambe owa Super Oil, William
Kajoba, Sarah Nkonge, Francis Nshekanabo, Teopista Nabbaale, Hajji Meddie Ssebaggala, Moses Bagalya n’abalala.
 
Baatutte ebintu bingi ng’ebisinga byakulya okuli omuceere, sukaali, amatooke, ennyama, sooda n’ebirala.
 
Nga tebannasimbula, Sebunya eyanekedde mu kkanzu n’ekkooti emmyuufu n’entalabuusi ku mutwe yasoose kwebaza abaamuwerekeddeko.
 
Yagambye nti, “okukyala mukolo mutono, omunene gwa kwanjula era tugwetegekedde.” Yalonze Muzeeyi Bakkiddaawo Sendagire okuba omwogezi.
 
 
Nga batuuse ewa ssenga, baayaniriziddwa omwogezi wa Rema, Issa Musoke eyabadde ne maneja wa Rema- Godfrey Kayemba, Musa Kavuma KT, Mukiibi Muzzanganda
n’abalala. Baatuukidde mu ddiiro olwo Rema n’avaayo ng’anekedde mu busuuti emmyuufu okwabadde eky’omu bulago ekya zzaabu nga ne ku ngalo ataddeko mpeta bbiri nazo nga za zzaabu.
 
Omukolo baaguyisizza mu bwangu. Rema yatudde awali Sebunya n’amwanjulira abazadde nti “ono ye sswiiti wange gwe njagala ennyo.”
 
 
Yakutte Sebunya ku mukono ne bafuluma okumulaga eri abaabadde mu kidaala nga bazinira ku luyimba lwa Diamond Platinumz olwa ‘Kwangwalu’.
 
Amazina baasoose kugeetegekera kubanga baazinidde ku nnyimba eziwerako ng’era bazina gafaanagana. Bannyina ba Sebunya abaakulembeddwa Faridah Kibirige baatonedde Rema ebirabo okuli Kulaani, omusaalo n’akakaaya.
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...