TOP

Bawambye owa S1 ne basaba obukadde 5

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2019

ABAZADDE basattira olwa muwala waabwe okuwambibwa, omuntu n’abakubira essimu ng’abasaba 5,000,000/-

Owas6jpg11111 703x422

Omu ku bakulembeze b'ekitundu ng'ayogera ne Nabbosa maama wa Nayiga (mu katono) eyawambiddwa..

Bya REGINAH NALUNGA

ABAZADDE basattira olwa muwala waabwe okuwambibwa, omuntu n’abakubira essimu ng’abasaba 5,000,000/- okumubawa nga mulamu bwe batazimuwa balindirire omulambo.

Shakirah Nayiga 16, omuyizi wa S1 mu ssomero lya Fairway Kazo- Kawempe ye yabuziddwaawo abantu abatannategeerekeka ne kiteeka aba ffamire ku bunkenke.

Nayiga muwala wa Umar Matovu ne Hadijah Nabbosa nga bombi ba mu Kawempe kyokka nga baayawukana buli omu abeera wuwe. Muganda wa Matovu, Ismail Mugasira agamba nti omwana ono abadde aweererwa ekitongole kya KICVOP ekirabirira abaana abanaku.

Mugasira agamba nti okusoma bwe kwatuuka, yanona muwala waabwe mu kyalo ewa jjajjaawe gy’awummulira n’amuzza e Kampala atandike okusoma. Yamuteeka ku kikubo ekigenda ewa nnyina gye yalina okuva agende ku ssomero.

Kyokka enkeera yagenda okuwulira nti omwana teyatuuse waka, waayitawo akaseera katono omuntu eyeeyita Denis Odong n’abakubira essimu ng’abasaba ssente. Bwe baamutegeeza nti balinawo 200,000/- zokka n’abategeeza bazireke banaazeeyambisa mu kuziika.

Baatandikirawo omuyiggo naye ne babulwa, oluvannyuma baagenze ku poliisi ne baggulawo omusango gw’okubula kw’omuntu waabwe ku fayiro nnamba SD: 42/30/09/2019.

Matovu azaala Nayiga  ng’akola gwa bubazzi, agamba nti abadde amaze ebbanga nga talaba muwala we engeri  gy’abadde alabirirwa ekitongole ng’ate mu luwummula abeera ne jjajjaawe.

Yasabye poliisi ebuulirize bulungi kubanga ebikolwa bya  Nabbosa byonna biraga nti aliko ky’amanyi ku kubula kw’omwana waabwe.

 

FFAMIRE ERUMIRIZZA MAAMA 

Matovu ne baganda be olukongoolo lw’okubula kwa Nayiga, baalutadde ku nnyina (Nabbosa) okuba nti alina ky’amaanyi kubanga okuva omwana lwe yabula, abadde teyeefiirayo mu njogera n’ebikolwa.

Baalumiriza nti yandiba nga y’abadde ku mupango gw’okuggya mu ffamire y’omusajja ssente. Wabula bino Nabbosa yabyegaanyi n’agamba nti talina nsonga emukwesa mwana we kubanga Matovu amulinamu abaana abalala lwaki yandikwese ono omu?

Nabbosa yagambye nti kiyinzika okuba nti omwana yatwaliddwa akalenzi ke yawulirako nga bato be boogerako nti akaagala.

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala, yategeezezza nti okunoonyereza n’okuyigga Nayiga bigenda mu maaso era nga bagenda na kunoonyereza ku nnamba ey’omuntu eyakubye essimu ng’asaba abazadde ssente.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...