TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enjala mu Uganda evudde ku sipiidi Bannayuganda kwe bazaalira

Enjala mu Uganda evudde ku sipiidi Bannayuganda kwe bazaalira

By Muwanga Kakooza

Added 11th October 2019

MINISITA w’ebyobulimi n’obulunzi Vincent Bamulangaki Ssempijja agambye nti sipiidi Bannayuganda kwe bazaalira abaana buli mwaka eri waggulu bw’ogerageranya n’okweyongera kw’obungi bw’emmere ekireseewo omuwaatwa omunene mu by’endya.

Ssempijja111 703x422

Minisita Sempijja

Bya MUWANGA KAKOOZA

 

MINISITA w’ebyobulimi n’obulunzi Vincent Bamulangaki Ssempijja agambye nti sipiidi  Bannayuganda kwe bazaalira abaana buli mwaka eri waggulu bw’ogerageranya n’okweyongera kw’obungi  bw’emmere ekireseewo omuwaatwa omunene mu by’endya.

          Ssempijja agamba nti buli mwaka abantu abaweza obutundutundu 3.2 buli kikumi beeyongera mu Uganda olw’abaana abazaalibwa kyokka ng’ebyobungi bw’emmere erimwa byeyongera obutundu 2.9 bwokka nga kino kye kimu ku bivuddeko endya mbi n’enjala.

          Bino Ssempijja yabitegeezezza mu kiwandiiko ng’ayogera ku by’okukuza olunaku lw’obungi bw’emmere olugenda okukuzibwa e Hoima nga October 16. Emikolo gya kubeera ku Bulindi Zonal Agricultural Research e Hoima mu Bunyoro.

          Yagambye nti abaana abawera ebitundu 33 buli kikumi abali wansi w’emyaka ettaano mu Uganda baakona lwa ndya mbi. Yategeezezza nti olw’embeera y’okulwanyisa ebbula ly’emmere gavumenti yetaaga obuwumbi obusoba mu 639  mu bbanga lya myaka ettaano okukola ku pulogulaamu z’okulwanyisa ebbula ly’emmere.

          Ssempijja yagambye nti abantu obukadde 820 mu nsi yonna basula njala. Bannayuganda ebitundu 33 buli kikumi tebalina mmere ebamala sso ng’abasajja 30 buli kikumi balya bubi olw’obukubulwa emmere n’ettamiiro.

          Yannyonyodde nti gavumenti etaddewo obuwumbi 25 ez’okufunira abantu abatalina kya kulya emmere era nga kuno kuliko ttani z’obuwunga bwa kasooli 1,600 n’ezebijanjaalo 1,400 okudduukirira abanoonyi b’obudamu abasoba mu kakadde akabali mu Uganda nga bava mu mawanga g’ebweru.

          Era waliwo ne ttani z’omuceere 5,983 ezibalirirwamu obuwumbi 22 ez’okugabirwa abantu abali mu obubi mu by’emere nga zino zaavudde China.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...