TOP

Ettaka libuutikidde abazimbi ewa Bakuli

By Joseph Makumbi

Added 11th October 2019

ETTAKA libuutikidde abantu abamu ne bafa ku kizimbe ekizimbibwa ewa Bakuli mu Kampala.

Rd4 703x422

Poliisi ng'etuuse mu kifo awagudde enjega eno.

Bya JOSEPH MAKUMBI  

ETTAKA libuutikidde abantu abamu ne bafa ku kizimbe ekizimbibwa ewa Bakuli mu Kampala.

Ekizimbe kino kiri ku kkubo eriva ku bitaala ewa Bakuli okuyunga ku Lubaga road.

Baatandika okukizimba ne bayiwa enkokoto ku ludda olumu olw’omusingi wabula ku Lwokutaano baabadde bakedde okuyikuula ku ludda olulala bongere okuzimba ng’oludda lwe basima luliko kabuyonjo ey’ekinnya ettaka ne libumbulukuka ne libuutikira abaabadde wansi.

alt=''

 

Lyabumbulukuse ku saawa nga 3:00 ez’enkya kyokka wezaaweredde saawa 6:00 mu ttuntu nga baakaggyayo omulambo gumu ogw’omusajja eyabadde ategeerekese nga Henry Kizza kyokka ng’erinnya likyatankanibwa.

 

Okusiziira ku Livingstone Kandiho aduumira ebikwekweto ku poliisi ya Kampalamukadde, ettaka bwe lyabumbulukuse abaabadde bakola ku kizimbe basoose kubikweka poliisi ne baggyayo omulambo ne bagukweka, ebyuma bye babadd ebakozesa ne tulakita ezisima ne bazikweka.

 

Poliisi weyajjidde yaggyeyo omusajja ne bamuteeka mu ambyulensi okumutwala e Mulago era okusinziira ku Michael Ssebbanja eyabadde avuga ambyulensi, webaamutuusirizza e Mulago ng’akutuse omugongo yabadde tasobola kuyimirira wadde okutuula.

Poliisi yategeezezza nti kkamera ezaabadde ku kifo nga zikwata ebifaananyi, abakozi baaziggyewo ne kompyuta okwabadde ebifaananyi baagenze okuzituukako ng’ebifaananyi babisanguddemu. Nannyini kizimbe yabadde tannaba kutegeerekeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

emboOKO z’abawala ezongedde ebbugumu...

Endabika y’abawala bano (okuba abalungi mu ffeesi) n’okuba ne ffiga ennungi tebikomye ku kubatunda nga bbo mu bantu,...

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.