TOP

Bannayuganda e SouthAfrica banaafuna densite

By Muwanga Kakooza

Added 11th October 2019

OMUBAKA wa Uganda e South Afrika, Barbra Nekesa ategeezezza nti Bannayuganda abali ku kyeyo e South Afrika nti bagenda kuwandisibwa n’okuweebwa densite ne paasipooti nga bali eyo mu kifo ky’okukomangawo okubifunira wano.

Neke 703x422

Nekesa (wakati) n'ababaka e South Africa.

Bya MUWANGA KAKOOZA

OMUBAKA wa Uganda e South Afrika, Barbra Nekesa ategeezezza nti Bannayuganda abali ku kyeyo e South Afrika nti bagenda kuwandisibwa n’okuweebwa densite ne paasipooti nga bali eyo mu kifo ky’okukomangawo okubifunira wano.

Nekesa yagambye nti okufuna paasipooti ey’omulembe eya ‘East African Passport’ Bannayuganda babadde balina kusooka kukomawo wano kyokka bigenda kukyuka.

            Nekesa yagambye nti ekitebe kya Uganda e South Afrika nga kikolagana n’ekitongole ekiwandiisa abantu mu ggwanga ekya NIRA kyatuusizza obuweereza mu ggwanga eryo ekigenda okusobozesa Bannayuganda okwewandisizza mu ggwanga eryo baweebwe densite.

            Bino yabyogeredde ku mukolo gw’okukuza ameefuga ga Uganda ogwabadde ku kitebe ekyo e Pretoria. Omukolo gwetabiddwaako ababaka ba Uganda mu palamenti ya Afrika okuli Okot Ogong ne Polof. Ogenga Latigo ne Bannayuganda nga kikumi.

            Kyategeezeddwa  nti abakulira NIRA baagambye nti Bannayuganda ababeera e South Afrika bagende beewandisize ku kitebe kyabwe era oluvannyuma lw’okwewandiisa ebintu bijja kuleetebwa e Kampala kaadi zaabwe zikubwe.

            Era baagambye nti mu kifo kya LC n’omukono gwa gw’akulira ebyokwerinda ku disitulikiti , abali e South Afrika bajja kweyambisa akulira ekibiina ekigatta Bannayuganda ababeerayo wamu n’abakungu b’oku kitebe kya Uganda mu ggwanga eryo okukaksa nti eyewandiisa Munnayuganda.           

            Kyategeezeddwa  nti abakozi ku kitebe bamaze okutendekebwa ku kye balina okukola nga bawandiisa Bannayuganda. Era oluvannyuma lwa densite okukubwa zijja kuwerezebwa e South Afrika.

            Irene Jogole avunaanyizibwa ku by’abantu abaagala okuyingira n’okufuluma Uganda ng’atuula ku kitebe kya Uganda e South Afrika yagambye nti ekitebe era kijja kuwa abatuuze b’e South Afrika abaagala okujja mu Uganda Viza. Era n’ategeeza nti akyayongera okwetegekereza engeri y’okuddamu okukola ku by’okuwa Bannayuganda paasipooti empya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...