TOP

Batuuzizza Ssemanobe omuggya

By Dickson Kulumba

Added 11th October 2019

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga ayanjuliddwa Omutaka Paul Kizito Ssemanobe ng'azze mu bigere bya John Baptist Sserwanja Ssemanobe eyafudde nga October 5,2019.

Bya DICKSON KULUMBA

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga ayanjuliddwa Omutaka Paul Kizito Ssemanobe ng'azze mu bigere bya John Baptist Sserwanja Ssemanobe eyafudde nga October 5,2019.

Omukolo guno gubadde Bulange -Mmengo enkya ya leero nga Ssemanobe omuggya ayanjuddwa Omutaka Mubiru Ziikwa II Gabunga akulira ekika ky'emmamba ng'abadde ne Katikkiro we Mulindwa Luyombo.

Gabunga era ayanjudde Rose Nakkazi nga Lubuga wa Ssemanobe omuggya nga bano bombi baasoose kusumikirwa mu buvunaanyizibwa buno ku mukolo ogubadde e Nagalabi-Buddo enkya ya leero nga gukoleddwa Omutaka Kaggwe e Bukaggwe.

Mu kwogera kwe Katikkiro Mayiga yebazizza obuwereeza bw'Omugenzi Sserwanja Ssemanobe eri Buganda naddala bwe yakola omukolo gw'ebirumbirumbi ogwakulembera okutikkira Kabaka Mutebi II mu 1993.

Mayiga asabye Ssemanobe omuggya okukuuma ettaka ly’e Nnagalabi erisigaddewo n'ebifo ebikulu eri Obwakabaka nga biri mu mbeera nnungi.

Omubiri gw'omugenzi Sserwanja Ssemanobe gutuusiddwa ku Lutikko e Lubaga okusabirwa. Katikkiro Mayiga n'abakungu b'e Mmengo bangi beetabye mu kusaba kuno okukulembeddwaamu Msgr. Wynand Katende.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...