TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Eyakukusibwa n'atwalibwa ku kyeyo e Dubai afiiriddeyo: Omulambo gulemeddeyo nnyina ne gamwesiba!

Eyakukusibwa n'atwalibwa ku kyeyo e Dubai afiiriddeyo: Omulambo gulemeddeyo nnyina ne gamwesiba!

By Musasi wa Bukedde

Added 12th October 2019

ABA famire y’omuwala eyakukusibwa n’atwalibwa ku kyeyo e Dubai, amagezi gabeesibye olw’okubulwa ebiwandiiko ebibakkiriza okutambuza omulambo.

Genda 703x422

Nakintu eyafudde

Fatumah Aisha Nakintu 20 ye yafiiridde ku kyeyo gy’amaze emyezi ebiri gyokka.

Aisha Nalubega nga ye maama w’omugenzi ng’abeera Kyoga mu disitulikiti y’e Wakiso yagambye nti asobeddwa engeri y’okuzza omulambo gwa muwala we kubanga n’eyamutwala olwawulidde nti yafiiriddeeyo n’amwekweka n’essimu n’agiggyako.

“Nakintu yagendako ku kyeyo mu Oman mu 2017 n’akomawo nga talina kyaganyuddwa olwa kkampuni eyamutwala okuwa Abawalabu akawunti nnamba yaabwe nga buli musaala kwe gutuukira ne bagulya, kwe kusalawo okuvaayo n’akomawo n’oluvannyuma n’agenda e Dubai”, Nalubega bwe yategeezezza.

Yagambye nti mu May w’omwaka guno Nakintu yatuukirirwa Hamid Kigozi n’amusaba 1,500,000/- ze yamutegeeza nti kkampuni emutwala zeekozesa okusasula emisoso gyona.

Yasasulako 500,000/- ne bakkaanya endala omuwala aziweereze nga yaakafuna omusaala gw’omwezi ogusooka era ssente zino n’azisasula mu August.

Nakintu yategeezezza nti nga muwala we tannaba kukolagana ne kkampuni eno yasooka kwebuuza ku poliisi y’e Kampalamukadde ne bakakasa nti ntuufu.

Kigozi yatwala paasipooti y’omugenzi e Zzana okumpi ne ssundiro ly’amafuta era wano webaasimbula okulinnya ennyonyi.

Nakubega yagambye nti yamala wiiki bbiri nga tawuliza Nakintu kyokka oluvannyuma yamukubira n’amutegeeza ng’essimu ye bwe yali esigadde ku ofiisi weyatuukira.

Yagambye nti yamuweereza 1,000,000/- ez’omusaala ogusooka ne basasula Kigozi. Yagambye nti waayita wiiki ssatu omugenzi n’amukubira n’amubikira okufa kw’omukadde gwe yali alabirira.

Nga wayiseewo ebbanga omuntu yankubira Nalubega essimu n’antegeeza nga Nakintu bwe yali afudde era n’amusaba okumubuulira amannya ga kkampuni eyamutuusa e Dubai.

Nalubega olwawulidde amawulire g’okufa kw’omwana we n’akubira Kigozi essimu n’amutegeeza kyokka olwamubikira essimu n’agiggyako nga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza