TOP

Bugingo alaze pulaani okumegga Ssenyonga

By Musasi wa Bukedde

Added 13th October 2019

PAASITA Bugingo awaze nti okusaba kwa Independence night okubaayo buli mwaka kwakugenda mu maaso newankubadde nga waliwo omuntu eyabayingiridde ku lunaku lwe beekwata olwa buli Lwakutaano olusooka mu mwezi gwa October okubeeranga mu kisaawe e Namboole ate naye n’asasula olunaku lwe lumu.

Inlife 703x422

Bugingo mu kusaba okwabadde e Namboole ku ntandikwa y’omwezi guno. Mu katonom ye Paasita Ssennyonga

Gwe yabadde ayogerako ye musumba munne Jackson Ssennyonga eyatuukirira abaddukanya Namboole n’abasasula okukozesa ekisaawe kino okumala emyaka egiwerako buli Lwakutaano olusooka mu mwezi gwa October, Bugingo kw’abadde ategekera okusaba kw’Ameefuga.

Wabula Bugingo yategeezezza abawagizi be nti wadde munne yakoze bino nti kyokka yamusalidde amagezi naye n’asasula olunaku olulala nga kitegeeza nti nabo tebajja kuva Namboole bwe kiba nga kye kyabadde ekigendererwa kye.

Okwogera bino yabadde mu kusaba mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga okwabadde mu kibangirizi kya Canan Land e Bwaise.

Yagambye nti newankubadde ng’omuntu eyabayingirira ku lunaku lwe bategekerako independence night yakozesa nsimbi n’ategeeza nti ensimbi si zezitwala abantu mu ggulu nga n’olwekyo buli muntu yandisaanyenga okumala okwetegereza buli kintu kyakola.

Bugingo yakutte akazindaalo ku ssaawa 7:04 ez’ekiro era yatandise na kwebaza bantu abaagenda e Namboole mu Independence night ya guno omwaka ne bagumira buli mbeeera enzibu gye baasanga nga mwalimu n’enkuba okutonnya wabula ne balemerako olw’okuba bamanyi kye baagala.

Yazzeeko na kwebaza abavubuka olw’okweyongera okwagala Katonda era mu kusaba okwabaddeyo ku Lwokutaano ennamba esinga yabadde ya bavubuka obwedda abayimba nga bwe bazina olwo ne Bugingo n’abeegattako.

Yagambye nti ye si musuubuzi mu njiri nga n’olwekyo ye obutaggyayo ssente ze yateeka mu nteekateeka y’olukungaana lwa Independence night takirinaako buzibu bwonna kubanga ekigendererwa kye ekisooka yali amaze okukituukiriza nga kino kye ky’okulokola abantu ate nga bangi abaalokoka ku lunaku olwo.

Bugingo yagambye nti ku Ssande eno nga 13 October agenda kulangirira olunaku olupya lwe yafunye olugenda okubaako Independence night y’omwaka ogujja.

Yagambye nti Namboole yasigala emubanja obukadde 71 ate ye si musajja mulyazamaanya ekitegeza nti alina okuzisasula n’ategeeza nti kati ebbanja eryo lisalise okutuuka ku bukadde 50 olw’abantu ab’enjawulo abavuddeyo ne bakwatiza wamu okulaba nga lisasulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga