TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensi egudde eddalu! Muzaata afuuka atya Dolibondo nga bakulu banne balaba?

Ensi egudde eddalu! Muzaata afuuka atya Dolibondo nga bakulu banne balaba?

By Musasi wa Bukedde

Added 13th October 2019

SHEIKH Muzaata baamuyise kulya n’adda mu kubala abaana! Mu kugenda ku mukolo gw’okukyaza abako, eyandikulembeddemu essaala eyagaliza Rema Namakula ne bba omupya Hamza Ssebunnya obufumbo obw’emirembe yafuuse balunaayiza (ng’ow’embaliga ayita mu luwenda)!

Muzaata 703x422

Muzaata (watati) ng’akutte Rema ne Hamza.

Ebigambo byamugalangatanyeeko okukkakkana ng’avumye Eddie Kenzo amagufa! Muzaata mu kulerembukira ku maama wa Kenzo, teyategedde nti mukaziwattu gw’ayogerako yafa emyaka egisoba mu 20 egiyise nga Kenzo akyali bbujje bubujje.

Mu kusabuka n’ebigambo ebirengezza Kenzo, mukulu Muzaata yabadde ng’eyeerabidde nti ebbali awo waabaddewo omwana omuto Aamal ng’awulira eby’ensimattu ebyogerwa ku kitaawe.

Yajolonze n’okulannama n’alannama kyokka nga gw’asangulizaako ettoomi taliiwo kweranwako nti ssi “Love nniga” era ssi “Ssemyekozo”!

Muzaata yatandikira ku kujolonga ba Kampalamukadde, abamu ne balowooza nti essungu ly’alina ku bintu by’Obusiraamu ebyali bitundiddwa lye lyali limutuusizza kw’ekyo.

Bwe yava awo n’alengezza Katikkiro Mayiga ng’ajegemera yeekwese mu ttoffaali n’Ekyapa mu ngalo nti by’awakanya. Azze asojja n’abakungu b’e Mmengo abalala era olulala yagabattukira ku yali Minisita w’ebyenjigiriza Masagazi Masaazi. Awo abantu we baatandikira okukitegeerera nti olulimi oluvvoola yaluyonka buyonsi, tataliza mukulu wadde omuto.

Loodi Meeya Erias Lukwago, Omubaka Mubarak Munyagwa ne Meeya Abdu Kiyimba be bamu ku bannabyabufuzi abalina ebisago by’olulimi lwa Muzaata olutalina wadde akakerenda k’empisa.

Olumu Gen. Katumba Wamala yawalirizibwa n’okusituka n’ayita Muzaata amenyewo ebigambo ebyali bikuma omuliro mu bakungubazi abaali bakung’aanidde e Kibuli era nga bw’aseka amajeemulukufu, n’amenyawo ebigambo ebyali byogeddwa olulimi olwatoloka ku nnannyini lwo ne lutandika okumansuka n’ebigambo nga lulinga olutaliiko afuga.

Ensi ng’enaagwa eddalu, omukulembeze w’eddiini asuubirwa okulyowa emyoyo ate y’akulembera ekiwendo ekitabangula emyoyo n’agimalako n’akalembereza akatono ke giba girina.

Eddalu likulira ddala nga ne bwe bamugambako, asigala alalambala bulalambazi n’olulimi lwe ne lumugoberera.

Olulimi lwa munnaddiini bwe lutandika okwatula ebigambo ebifaananira ddala n’ebya Dolibondo (azannya katemba alimu n’okuwemula) ng’omanya terikyali ddalu lya bulijjo, lifuuse kkankada lyennyini.

Eddalu lituuka n’okukwata akaggo ne likootakoota ng’abatwala Muzaata mu by’eddiini tebamufuddeeko kumuzza ku mulamwa mutuufu, ne baba ng’abatawulira bwa kasobeza bumwetoolodde.

Obeera okyasuubira okukangavvulwa okuva mu batwala Muzaata e Kibuli, ate ogenda okuwulira nti gwe balonze okubeera omwogezi w’ekiwayi ky’Obusiraamu e Kibuli. Naye okuggyako abakulu okuleka ensi egwe eddalu nga batunula, baleka batya Muzaata avuganye Dolibondo mu kumokkola agagambo agawemula n’agavvoola.

Bagundi mulimba mutuyambe mukwate ku muntu wammwe kubanga “Ebbwa ddene ligambwako nnyini lyo”. Bwe mutaamukangavvule, n’agenda mu maaso n’okulengezza abantu nga mukuba bukubi mu ngalo nga muwaddeyo ensi eraluke nga mutunula mwenna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata