TOP

Ajereze omukazi n’anyiiga n’amuyiira olweje

By SHAMIM NABUNNYA

Added 13th October 2019

POLIISI ekutte omukazi agambibwa okwokya mukwano gwe olweje oluvannyuma lw’okumujerega.

Yokya 703x422

Kalyango ng’alaga ebiwundu bye yafunye.

Rativa Namanda 28, ow’e Makindye - Mayanja zooni, akuumibwa ku poliisi y’e Katwe oluvannyuma lw’okwokya Med Kalyango amazzi eyabadde amujerenga n’atyoboola erinnya lye.

Namanda olwatuusiddwa ku poliisi y’e Katwe yategeezezza nti Kalyango abadde ayitirizz okumuvuma ng’amujerenga nti atunda manda ng’erinnya lye Namanda nga kino kye kyamuggye mu mbeera n’akwata ebbinika y’amazzi agookya n’agamuyiira.

Kalyango yakubye enduulu eyasombodde abatuuze ne bakwata Namanda eyabadde agezaako okudduka kyokka abatuuze baategeezezza poliisi nti Namanda ne gye yava okujja ku kyalo yayokya omwana wa muggya we omubiri gwonna era ono mu kiseera kino akuumibwa ku poliisi y’e Katwe gye yagguddwaako omusango ku fayiro nnamba SD: 19/08/10/2019.

Oluvannyuma Kalyango yatwaliddwa mu ddwaaliro e Kiruddu gy’ajjanjabirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...