TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa ekigenda okumalawo obumenyi bw'amateeka mu ggwanga'

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa ekigenda okumalawo obumenyi bw'amateeka mu ggwanga'

By Musasi wa Bukedde

Added 14th October 2019

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero ebiri mu ggwanga.

Wanika1 703x422

Ahmed Kaweesa Ssengendo (ku kkono), nannyini Islamic University . Wakati ye Yahaya Kyabangi, nnannyini ssomero lya Gangu Moslem School

Ahmed Kaweesa Ssengendo nnannyini Islamic Yunivasite  yasinzidde ku mukolo  gw’essomero lya Gangu Muslim kwe yabadde omugenyi omukulu nga bajaguza okuweza emyaka 10 saako n’okuggulawo omuzikiti ogwazimbiddwa ku mutindo omulungi nga guliko emyaliriro ebiri waggulu n’okusabira abayizi ba P7 abagenda okutuula ebigezo by'akamalirizo n’okutikkira abayizi abaagenze mu P.1

Ssengendo yagambye nti ebikolobero byonna ebiri mu ggwanga bivudde ku bazadde butakuliza baana mu ddiini  n’obutabatendeka empisa za buntubulamu ekiviiriddeko okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka n’abamu yadde basomye ne balemwa okufuna emirimu lwa butaba na mpisa.

“Singa buli muntu alina eddiini n'empisa tetwandibadde na bikolobero mu ggwanga kale abazadde  mufube nnyo okuzza abaana nga batya Katonda ate nga balina empisa kuba ne bw'omusomesa n'afuna ddiguli nga talina mpisa oba omaze budde tasobola kufuna mulimu,” Ssengendo bwe yategeezezza.

Yasabye abalina ssente  okufaayo ku batalina mu bitundu gye babeera  ekijja okubayamba okubajjukira nga bavudde mu bulamu bw'ensi naye abamu olufa ekyalo kisanyuka olw’ebikolwa ebibi by’obadde okola .

 

“Osobola  okuba ne ssente n’oweerera abaana bo nga aba muliraanawo tebaasoma naye gye biggweera nga bawasizza muwala wo kale muyambe abatalina okusinga okweyagaliza ne famire zammwe. Abamu olw’ebikolwa byabwe ebibi bwe bafa ekyalo kijaganya nga bagamba nti tuwonye okutubbira ebisolo byaffe,” Ssengendo bwe yategeezezza

Yahaya Kyabangi nnannyini ssomero lya Gangu Muslim yagambye abantu okuba abeesigwa mu bye bakola lwe bajja okutuuka ku buli kirungi kye baagala mu nsi ng’ekisinze okulemesa abantu obutakulaakulana tebalina bwesigwa eri bannaabwe

Omukolo guno gwetabiddwaako ebikonge   okwabaadde , SP Bashir Ssempala omumyuka wa RPC mu KMP East , Gerald Lumbuye Nsubuga, Meeya wa Makindye Ssaabagabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...