TOP

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba

By Musasi wa Bukedde

Added 14th October 2019

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu ekyawulo ekyalo kya Bbuto ne Namugongo mu ng'ali mu nsiko alinga eyakubiddwa kalifoomu tategeera biri mu nsi!

Story 703x422

Nagujja ng'ali ku Polisi mu Bbuto

Ono oluvannyuma azuuse nga mutuuze w'e Kasangati mu Buyinja zooni atwaliddwa ku poliisi e Bbuto gy'akyakuumirwa ng'okunoonyereza ku ngeri gye yatuuse mu Bbuto bwe kugenda mu maaso. 

Nagujja yalondeddwa omugoba wa bodaboda Yosam Kamya, eyabadde ava e Namugongo okudda e Bweyogerere, eyamulabye mu nsiko ng'akyamye okufuuyisa kwe kugenda ku Polisi n'abatemyako. 

Nagujja oluzze engulu ng’ali ku poliisi, ategeezezza nti  yavudde awaka ku ssaawa 12 ez’olweggulo, ng’agenda okunona ebitengi bye  okuva ku mutunzi we yabireka  e Kira, bwe yalinnye bodaboda, we yakomye okutegeera  era agenze okudda engulu ng’ali ku poliisi ku makya. 

Nagujja bw'abuuziddwa  oba alina abantu ababadde bamutiisatiisa okumukolako ekintu kyonna eky'obulabe agambye nti mu nnaku ssatu eziyise bw'abadde ava ku mulimu, alina abasajja 2 abaabadde bamulondoola okuviira ddala ku kikubo ekidda e Nangabo, kyokka ekimwewunyisa bw'ayingira ekikomera w'asula, nga bayimirira nga beefuula abali mu mboozi zaabwe. 

‘Nabadde ne ssente eziwera emitwalo munaana mu nsawo naye zonna nkyazirina,   ne essimu zange nazo baazindekedde, okuggyako mpulira obulumi mu matama nninga gwe baakubye empi, mpozzi n’amaanyi sirina," Nagujja bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...

Kiwanukaboxer1 220x290

Kiwanuka awera kuggunda Muzimbabwe...

MUNNAYUGANDA omuggunzi w’enguumi Shafic Kiwanuka ayongedde okwewera bwagenda okuyuza obulindaminyira Omuzimbabwe...

Img3741webusejpgbizigo 220x290

Okubeera mu kyalo teking'aana kuyiiya...

Nagaana okulinda sizoni y'ebirime ne ntetenkanyiza mu kukola sabbuuni n'ebizigo mpone okusabiriza omwami

Kalagi21webuse 220x290

Abasuubuzi b'omu Kalagi beeraliikiridde...

Kasasiro atuuse okulwaza bakasitoma be tuguza ebyokulya ate n'endwadde teziggwa mu baana

Untitled5 220x290

Akawuka ka siriimu tekannemesezza...

EMYAKA 23 agimaze n’akawuka mukenenya. Embeera eno mw’awangulidde engule z’obwannalulungi bbiri n’avuganya ku bwannalulungi...