TOP

Abanaakoppa sijja kubawolereza

By Lilian Nalubega

Added 14th October 2019

Omubaka wa Pulezidenti e Butambala alabudde abayizi ku kukoppa n'abagamba bw'atajja kubawolereza nga bakutte ebigezo byabwe

Omubakawapulezidentieebutambalabadrussebyalawebuse 703x422

Omubaka wa Pulezidenti e Butambala, Badru Ssebyala

Bya Lilian Nalubega

Omubaka wa Pulezidenti e Butambala, Badru Ssebyala avuddeyo ku bayizi ba siniya eyookuna abaatandise ebigezo byabwe n'abalala abagenda okukola eby'akamalirizo okuba abeegendereza beewale okukoppa kibataase obutejjusa ng’ebigezo byabwe tebikomyewo.

"Omwaka oguwedde mwanswaza ne mumbeeza mu kuleebuukanira ku UNEB nga nninga nze nabba ebigezo, omulundi guno mulina okukyewala kubanga sigenda kuddamu kubabonaabonera," bwatyo Ssebyala bwe yagambye.

Yabadde ku Klezia y'ekigo ky'Abatukuvu bonna e Kibibi mu Butambala n'ategeeza nti, ebigezo nga bikolebwa abayizi bagwana okuba abeegendereza beewale ababalimbalimba nti balina ebibuuzo ate nabo okusoma beetegereze ebibabuuzibwa basobole okwekkiririzaamu nga babyanukula.

Yalabudde abasomesa abeefuula abagezi ne balimbalimba abaana n'ebigezo nti, kino balina okukikomya baleme kuttira baana bulamu bwabwe obw’omu maaso.

Abazadde yabasabye okuwa abaana byonna bye beetaaga nga bakola ebigezo baleme okutaataaganyizibwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...