TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Elwelu, aduumira amagye g'oku ttaka alumbye aba People Power

Elwelu, aduumira amagye g'oku ttaka alumbye aba People Power

By Henry Nsubuga

Added 14th October 2019

ADUUMIRA amagye ga UPDF ag’okuttaka, Maj. Gen. Peter Elwelu alumbye bannakisinde ky’ebyobufuzi ekya People Power n’agamba nti okwambala obukoofiira obumyufu n’okwekalakaasa tebiyinza kubatwala mu buyinza nga bwe balowooza.

Soma1 703x422

Elwelu yagambye nti bano balimbiddwalimbiddwa ne beerabira nti obukulembeze bwa Pulezidenti Yoweri Museveni buliko Katonda y’ensonga lwaki yakola ekyafaayo ng’alina emmundu 27 zokka n’agenda mu nsiko okulwana era oluvannyuma lw’emyaka etaano gyokka n’asobola okukwata obuyinza.

Ono yabadde abuulira mu kusaba kw’okwebaza ku kkanisa ya Christian Covenant Ministries esangibwa e Namiryango mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono ku Ssande. Ng’alinnya ku kituuti, Elwelu yasoose kuggyamu ngatto n’azireka we yabadde atudde n’agendera mu sitookisi ng’agamba nti akatuuti kifo kitukuvu ekisaanidde okuweebwa ekitiibwa wadde ng’abasumba b’ennaku zino bakaweebuula.

Wakati mu kubuulira enjiri, yalumbye ab’ekisinde kya People Power abakulemberwa omubaka wa palamenti owa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) n’abagamba nti bave mu kwekubagiza bakole n’okwekwasa Katonda, bw’anaabawa omukisa baakufuna obuyinza bwe bayaayaanira sso si kumalira budde mu kwambala bukoofiira bumyufu obutalina gye buyinza kubalaza.

Yagambye nti ne bwe banaakwata emmundu okugenda balwane nga Katonda tali ku lwabwe tebalina kye bayinza kukola ku gavumenti ya NRM.

Ku bavubuka abasusse okukaaba ebbula ly’emirimu, Elwelu yabaviiridde mu buntu n’agamba nti bano obwassemugayaavu bwe bubaleetedde akabasa nga beerabidde nti Katonda yabalagira okukola basobole okufuna ekyokulya okuva mu ntuuyo zaabwe.

Wabula era Elwelu yalumbye n’abasumba ennaku zino be yagambye nti bayitiridde amalala, obuluvu, obulyake n’okweyagaliza bokka ne bokka bye yagambye nti biyitiridde okubasuula mu ntata.

Ye omusumba Kharim Kitunzi ow’ekkanisa eno yasabye abantu okulabira ku Gen. Elwelu okusalawo okuteeka ku bbali ebitiibwa bye eby’amagye ne yekkakkanya okutuuka okulinnya ku katuuti abuulire enjiri nga n’okwesigama yeesigama ku Bayibuli.

Yategeezezza nti olw’okumanya Katonda okutuuse ne mu baamagye, eggwanga Uganda terigenda kuddamu kubeeramu kuyiwa musaayi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza