TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kasirye Ggwanga aweze okulwanyisa abanene abasaanyawo ebibira

Kasirye Ggwanga aweze okulwanyisa abanene abasaanyawo ebibira

By Joseph Mutebi

Added 14th October 2019

MUNNAMAGYE Maj. Gen. Kasirye Ggwanga alangiridde ng’obwanga bw’abwolekezza e Butambala alwanyise abanene abasaanyaawo ebibira.

Kasirye3 703x422

Kasirye Ggwanga n'embwa ye.

Bya JOSEPH MUTEBI
 
MUNNAMAGYE Maj. Gen. Kasirye Ggwanga alangiridde ng’obwanga bw’abwolekezza e Butambala alwanyise abanene abasaanyaawo ebibira.
 
Yagambye nti amaze okufufuggaza ab’e Mubende, Mityana ne Busujju kwe kusalawo alumbe ab’e Butambala.
 
“Nze sitiisibwatiisibwa muntu yenna ne bw’aba waamagye nga ndi ku kituufu, naddala
okulwanirira obutonde kubanga nze okujja okunnumba oteekwa okubeera nga weetegese bulungi.
 
Ndi omu ku bajaasi abatono wano mu Uganda abaatendekebwa obulungi mu Amerika era amagye naakagamalamu emyaka 47, ekitegeeza nti buli kye nkola ndi mukugu.” Bwatyo Maj Gen. Kasirye Ggwanga bwe yategeezeza.

 

 
Kasirye eyasangiddwa ku ffaamu ye eya “Camp David” e Banda mu ggombolola y’e Nakisunga mu Mukono ku Ssande gye yayise bannamawulire okubalaga embeera omusajja Omuganda gye yakuliramu nga bwe yali ng’amaka g’Omuganda gaabanga geetooloddwa ebibira, ente, embuzi n’ebyokulya ebirala ng’ate si bifuuyire.
 
Yagambye nti abantu bayitirizza ejjoogo oli n’ava ewaabwe n’ajja mu Buganda ne bamuguza ekibira n’atema emiti egy’emyaka 60, n’atunda embaawo ate n’amala n’asimbawo kalittunsi ow’okutemamu ebikondo by’amasannyalaze era nabyo bwe
bituuka okutunda ate n’agaana okuwa abaana b’omu kitundu omulimu gw’okubitema.
 
Yayongeddeko nti agenda kutuukirira amyuka aduumira poliisi mu ggwanga, Maj Gen. Muzeeyi Sabiiti amubuulire lwaki yawa ab’ebibira poliisi ebakuuma kyokka ne batema emiti nga batunula ne batafaayo kulwanirira butonde.
 
Era yagambye nti amangu ddala amakanda g’okulwanirira n’okutaasa ebibira bya gavumenti n’obutonde bw’ensi waakugasimba e Gomba n’e Butambala kubanga nayo bamaze okumutegeeza nti abasaanyaawo ebibira byayo bali ku misinde mizibu.

 

 
Kasirye Ggwanga yawadde omuyimbi era omubaka wa Kyadondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi amagezi, kino ekisanja akyesonyiwe kubanga Museveni akyalina obuwagizi bungi mu bantu.
 
Yawadde abazadde amagezi okusomesa ennyo abaana baabwe wabula babalekere ebbeetu okusalawo oba bakola omulimu abazadde gwe bakola oba nedda kubanga ye tayinza kuwaliriza mwana we kuyingira magye okuggyako nga yeesaliddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza