TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kenzo ategese kulumba Muzaata e Kibuli amubuulire akana n'akataano

Kenzo ategese kulumba Muzaata e Kibuli amubuulire akana n'akataano

By Josephat Sseguya

Added 15th October 2019

EDDY Kenzo ategese kulumba Sheikh Nuuhu Muzaata ku muzikiti e Kibuli bw’aba agaanye okwetonda ku by’okumuvvoola nti agende awase nnyina n’okumuyita omuseegu.

Muza 703x422

Kenzo eyalayidde n’obutaddamu kuyimbira mu Uganda okuggyako nga Muzaata amaze okumwetondera, yategeezezza nti asazeewo asooke akomewo e Uganda asiisire ku muzikiti e Kibuli era si waakuvaawo okutuusa ng’ebya Muzaata biwedde.

Biddiridde Muzaata okutegeeza abaali ku mukolo Rema Namakula kwe yakyaliza bba omupya, Dr. Hamza Sebunya ewa ssenga we, Sarah Nanteza. Okukyala kwali Naggulu ku Lwokusatu.

Eyo Muzaata gye yasinziira okumulangira nga bw’ali ‘laavunniga’ ssemyekozo eyalemwa okuwasa ng’awoza mbu ayagala alinga nnyina, n’amulangira agende awase nnyina.

Teyakoma awo n’adda mu Juma ku Lwokutaano n’agamba nti n’empisa ze n’ennyambala ye ey’obuuma mu matu alinga omuseegu. Mu Luzungu, Kenzo yawandiise nti; I am coming back and will be sleeping outside Kibuli mosque until I see Mr. Muzaata, njagala ampoowe ne maama wange.

Kenzo eyabadde omunyiivu yagasseeko nga bw’atakyayagala buyambi bwa muntu yenna amuwa magezi ku nsonga eyo kubanga ye yekka ategeera ky’ayitamu.

Obubaka bw’okwekalakaasiza e Kibuli yabutadde ku mukutu gwe ogwa facebook kyokka bw’amazeeko essaawa bbiri zokka n’agattako obulala nti; “Nkimanyi Uganda yonna nkoowu olw’engeri gye nkuttemu ebintu bya Muzaata era nkimanyi obulamu bwange buyinza obutasigala kye kimu naye tekirina buzibu ne bwe kuba kufa ka nfe.

Nfunye obubaka bungi okuva mu mikwano gyange n’abantu abalala nti nsirike naye sisobola era sikyetaaga kintu kyonna kati.

Nja kuba musanyufu okugoberera maama wange. Muzaata tayinza kung'amba mpase maama wange ate n’atakoma okwo n’agamba ensonga lwaki nnina ‘pin’ mu matu nti ndi museegu ne nsirika.

Oba ensi yonna enkyaye, nkitegeera naye teri amanyi kye mpitamu ssaawa eno. Kye mmanyi Muzaata talina ky’afiirwa kubanga yasoma eddiini n’amala era waakitalo naye nze erinnya lye nzimbidde ebbanga, liri mu kufa olwa bye yayogedde.

Nkola nnyo olw’ebyafaayo bya ffamire yange era nsula ntunula nga nnoonyeza ffamire yange ekyokulya naye essaawa eno oba byonna biggwaawo kabiggweewo Muzaata alina okumbuulira oba omuntu ayinza okuwasa maama we.

Muzaata olina amaanyi mangi nkimanyi naye ka nkomewo tulabe,

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled3 220x290

‘Gy’otega amaggwa...’

ABAAGEREESA nti gy’otega amaggwa gye bakuzza anti lutuukira bulungi ku ba KCCA bano abaagudde mu kinnya kyabwe....

Pala1 220x290

Omuwala afiiridde mu ssaluuni omulala...

Omuwala afudde mu ngeri erese ekitundu mu ntiisa sso ng’ate munne bwe baasuze mu muzigo gwe gumu addusiddwa mu...

Muhayiminanamuwayaowajkldolphinswakatingalwaniraomupiiraneroseakonkuddyonezainahlokamweriaba9317 220x290

Fayinolo ya liigi mu basketball...

Flavia Aketcho kapiteeni wa JKL ne Sarah Ageno owa UCU buli omu awera kulemesa munne kikopo.

Ju1 220x290

Laba ekyabadde ku Introduction...

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Bobiwine4e1575702705296 220x290

Engule Bobi Wine gye yawangudde...

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku...