TOP

Entalo 10 Sheikh Muzaata z'azze alwana

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2019

Entalo 10 Sheikh Muzaata z'azze alwana

Kola 703x422

Muzaata

  1. March wa 2018, Muzaata yatimpula omusomesa wa Bilal empi n'ebikonde ng'amulanga kukuba mwana we. Muzaata yamuboggolera nti toddangayo okukuba omwana wange. Amangu ago n’amupacca oluyi, omusomesa n’awunga. Ekyaddirira bayizi kwekalakaasa olw'enneeyisa ya Muzaata
  2. November wa 2017, yavumirira enkola y’ekitongole ky’ebyettaka ekya Buganda Land Board ey’okulangirira okuwandiika abantu abali ku ttaka lya Kabaka nga bwe July wa 2017, yavumirira Mariach olw'okuvvoolo Obusiraamu ng'azannya katemba we. Ebyaddirira nga Mariach agenze e Kibuli n'amwetondera mu buntu!
  3. Jan 2016, Muzaata yalumba Abudallah Kitatta n'amulangira obufere Kitatta naye yamwanukula ne zidda okunywa!
  4. November 2016, Muzaata yalumba Gen. Kale Kayihura eyali omuduumizi wa poliisi mu ggwanga ng’amulumiriza okweyingiza mu nsonga z’Abasiraamu n’azitabula. Yamulabula nga bw’ajja okusasulira byonna by’azze akola Abasiraamu ng’avudde mu ofiisi gye yalimu.
  5. June, 2016, omuyimbi Bobi Wine (Robert Kyagulanyi) yawa Muzaata ennaku 14 ng’amaze okwetondera Mmengo ku bigambo bye yali ayogedde ng’avumirira enkola y’okusolooza Etofaali.
  6. Mu May 2015, Sheikh Muzaata yalumba Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ng’avumirira enkola y’okukung'anya Ettoffaali. Yategeeza nti enkola eno yali terina ky’eyamba Buganda.
  7. Mu March 2015, eyali meeya w’e Kawempe, Mubarak Munyagwa yalumba Muzaata n’asaba Katikkiro amuwe obuvunaanyizibwa bw’okumwanukulanga buli lw’anaalumbanga Mmengo. Yamulangira okufuula Obusiraamu bizinensi ye.
  8. August 5, 2017, Muzaata yalumba munnakatemba Mariach ng’amuvunaana okweyambisa katemba n’alumba abakulembeze b’Obusiraamu n’okuvvoola eddiini. Yagamba nti Mariach yali ayitiridde ng’akomye w’alina okukoma era yasaba Abasiraamu okumukuba.
  9. 2006, obutambi bwa Muzaata ng’alumba Sheikh Shaban Mubajje bwatunda nnyo ng’amulanga okutunda emmaali y’Obusiraamu. Yakunga Abasiraamu obutaddamu kukkiririza mu Mubajje wadde okubasaazisa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...