TOP

Abakozi b'omu bikajjo bookezza emmotoka

By Saul Wokulira

Added 15th October 2019

ABAKOZI mu bikajjo bya kkampuni ekola sukaali eya Kakira sugar works ey’omugagga Madhvan bazzeemu okukola effujjo bwe bookezza emmotoka kika kya Fuso nnamba UAX 832A kwe baabadde batambulira n’okutema abantu.

Bikajjo 703x422

emmotoka abakozi b'omu bikajjo gye baayokezza

ABAKOZI mu bikajjo bya kkampuni ekola sukaali eya Kakira sugar works ey’omugagga Madhvan bazzeemu okukola effujjo bwe bookezza emmotoka kika kya Fuso nnamba UAX 832A kwe baabadde batambulira n’okutema abantu.
 
Bino byabadde mu ssamba y’ebikajjo bya Madhvan esangibwa ku kyalo Namataala mu ggombolola y’e Bbaale mu disitulikiti y’e Kayunga.
Emmotoka yakola endagaano n’aba kkampuni ya Madhvan okutambuza abakozi nga bagenda okukola mu bikajjo.
 
Abakozi bazze batuusa ebisago ku bantu abenjawulo okuli ne munnamawulire wa Bukedde, Amon Mukasa gye buvuddeko.
Abatuuze baawanjagidde gavumenti eyogeraganye n’omugagga Madhvan ku nsonga z’effujjo abakozi be.
 
Baasoose kwagala kutematema ddereeva ayitibwa Badru Bunaanyuma n’addukira mu
bikajjo era n’okutuusa kati tamanyiddwako mayitire kubanga n’amasimu ge tegaliiko.
 
Oluvanyuma poliisi okuva e Bbaale yazze ne n’egobagana n’abasajja ba Madhvan era beeyokya ebikajjo ne babula.
 
Akulira ba mbega ba poliisi e Kayunga Isaac Mugera yagambye nti poliisi etandise okunoonyereza era bonna abanaazuulibwa nga beetabye mu ffujjo lino baakukwatibwa bavunaanibwe.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano