TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni awadde Sabiiti ekiragiro ku batta abantu

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro ku batta abantu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2019

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo n’enkola ennambulukufu okulwanyisa abatta abantu.

M71 703x422

Museveni

Bya MUSASI WAFFE

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo n’enkola ennambulukufu okulwanyisa abatta abantu.

Muzeeyi y’amyuka Martins Okoth Ochola.

Museveni mu kiragiro kino yatageezezza nti awulira yeetamiddwa abatemu be yayise ‘embizzi’ abatta abantu nga bakozesa ebijambiya n’emitayimbwa olwo ne balyoka babakolako obunyazi obw’enjawulo.

 abiiti Sabiiti

 

Bino we bijjidde nga ku Mmande abatemu baateeze omusuubuzi Joseph Baguma ku maka ge e Kisubi ku lw’e Ntebe ne bamutemaatema ssaako okubba ssente ezisoba mu bukadde 100.

Era ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, abatemu baayingiridde omugagga mu bitundu by’e Garuga ne bamutemula.

Ku lunaku lwe lumu abakubi b’obutayimbwa baataayizza omuserikale Joshua Tusingire akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku CPS ne bamukuba ne bamuleka ng’ataawa.

Museveni yategeezezza nti yabadde akyali mu kibuga Addis Ababa ekya Ethiopia naye bw’anaakomawo ajja kusooka kuyita mu pulaani ya Sabiiti olwo bw’anakkaanya nayo ajanjulire eggwanga abantu bonna bamanye engeri gy’agenda okulwanyisaamu ettemu lino.

Omuduumizi wa Poliisi Martins Okoth Ochola tali mu ggwanga ng’aliko olukuhhaana lwe yagendamu e Peru.

Mu kiwandiiko Museveni kye yatadde ku mukutu gwe ogwa Facebook ng’abuulira abazzukulu ne Bannayuganda bonna, yategeezezza nti abatemu bangu nnyo okutuula ku nfeete n’awera nti baakufaafagana nabo okulaba ng’abantu babeera mu ggwanga mu mirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit16 220x290

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza...

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza okuddayo okusoma

Siminyu703422 220x290

Ab'ekitongole ekigaba paasipooti...

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde...

Funa 220x290

Eddiini yannemesa ekyana

ENSONGA z’eby’omukwano tezimbeeredde nnyangu okuviira ddala nga naakatandika eby’okwagala.

Lukwago 220x290

‘Twagala kumanya musaala gwa Byamukama’...

LOODI meeya Erias Lukwago ne Male Mabiriizi batutte okusaba mu kkooti nga baagala kkooti ebawe fayiro y’akulira...

Worship 220x290

Abantu beemulugunya ku bukambwe...

BANNAKAMPALA balaze obutali bumativu ku bikwekweto ebikolebwa ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME ku babba amasannyalaze...