TOP

Poliisi emukutte awambye abaana 16

By Vivien Nakitende

Added 15th October 2019

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti abadde abatwala kubatayirira.

Taxi5 703x422

Lwanga ku takisi mwe yabadde apakidde abaana.

Bya VIVIEN NAKITENDE NE MARTIN KIZZA
 
POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero
n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti abadde abatwala kubatayirira.
 
Musa Hassan Lwanga yakwatiddwa oluvannyumna lw’okugenda ku ssomero lya St. Peters Katuro e Bujuuko mu disitulikiti y’e Mpigi, n’aggyayo abaana 16 ng’alimbyerimbye omusomesa gwe yasanzeewo nti yategeerana n’omukulu w’essomero abatwale batayirirwe.
 wa oliisi ngayimiriza takisi wanga mwe yabadde atwalidde abaana Owa Poliisi ng'ayimiriza takisi Lwanga mwe yabadde atwalidde abaana.

 

 
Yabatadde mu takisi nnamba UAU 260L.
 
Kyokka waliwo abasomesa abeekengedde embeera eno ne bakubira omukulu w’essomero eyabategeezezza nti tannabaako gw’alagira kutwala baana.
 
Yakubidde poliisi y’e Bujuuko mu bwangu nayo eyatandikiddewo okunoonya takisi
eno. Baagisanze eyingidde mu ddwaaliro e Mengo.
 
Lwanga eyawambye abaana yategeezezza nti, yalaba abasomesa b’essomero lino n’abawa empapula bazirage abazadde bateekeko emikono bakkirize abaana okutayirirwa.

 

Bwe yabuuziddwa empapula abazadde kwe bassa emikono nga zimukkiriza okutayirira abaana baabwe ng’amatama ntengo.
 
Poliisi yamukutte n’aggulwako omusango gw’okuwamba abaana ku fayiro SD:14/14/10/2019 ku poliisi e Bujuuko.
 
Peter Ndegeya, omukulu w’essomero yagambye nti Lwanga yalimbye omu ku basomesa nti abaana agenda kubatwala mu bazadde baabwe bamuwe olukusa omusomesa n’akkiriza.
 
Abaana abamu yabadde ataayiza bataayize mu kkubo nga tebannatuuka ku ssomero.
 
“Bwe baatuuse mu kkubo baagenzeeko mu maka ga bazadde ba mirundi ebiri.
Bwe baagaanye n’asalawo abatwale ku mpaka.
 bamu ku baana abaataasiddwa Abamu ku baana abaataasiddwa.

 

 
Yalimbye omusomesa nti kaasooke agende anywe amafuta, wabula ku mafuta yayiseewo buyisi n’avuga kapaalo, awo omusomesa ne yeekengera n’ankubira essimu. Lwanga yaggyeeko omusomesa essimu tuleme kuwuliziganya.
 
Nakubidde poliisi y’e Bujuuko essimu ne tutandika okumulondoola,” Ndegeya
bwe yannyonnyodde.
 
Kigambibwa nti Lwanga okuwamba abaana abatwale okutayirirwa afunamu ssente ennyingi.
 
Buli mwana gw’atwala bamuwa ssente ezitakka wansi wa 50,000/-.
 baana abaatasiddwa nga bibasobedde Abaana abaatasiddwa nga bibasobedde.

 

 
Justus Namara atwala poliisi y’e Bujuuko yagambye nti, omukulu w’essomero bwe yamukubidde essimu ku kuwambibwa kw’abaana yasitukiddemu era omusajja
n’akwatibwa.
 
Lwanga yaggaliddwa nga bwe banoonyereza ekigendererwa kye ekituufu era
ajja kutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.
 
Namara yakubirizza abazadde n’abasomesa bulijjo okubeera abeegendereza
n’abantu be bakwasa abaana baabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...