TOP

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka

By Alice Namutebi

Added 15th October 2019

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani we Enanga gye baafunamu mayiro z’ettaka ennya kwe baagoba abantu.

Enanga1 703x422

Enanga mu kakiiko.

Bya ALICE NAMUTEBI
 
TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani we Enanga gye baafunamu mayiro z’ettaka ennya kwe baagoba abantu.
 
Okunnyonnyola yakutandikidde mu Lungereza kyokka oluvannyuma n’asaba adde mu lulimi lwe. George Echonga ne mutabani we Fred Enanga kati be bannannyini mmayiro z’ettaka ennya eziri ku kyalo Oreta ekisangibwa mu ggombolola Akokoro mu disitulikiti y’e Apac.
 
Jjajja wa Fred Enanga ayitibwa Napthali Enanga ye yabaloopa mu kakiiko nga bwe baatwala ettaka lyabwe ery’ekika.
 
Echonga yabadde mu kakiiko akabuuliriza ku nsonga z’ettaka.
 
Looya w’akakiiko Ebert Byenkya bwe yamubuuzizza engeri gye yafunamu ettaka eryo yasoose kugamba nti si lya kika.
 

 

Yategeezezza nti taata we, omugenzi Enos Okabo talina muntu yenna gwe yaligulako wabula yava gye baali bamuzaala ku kyalo Arita n’asenga ku kyalo Oreta era okuva olwo mayiro z’ettaka nnya ne zifuuka zize.
 
Yasoose kwogera mu Lungereza nga buli ekimubuuzibwa akizzaamu maanyi naye akakiiko bwe kaawumuddemu, yakomyewo n’agamba ssentebe w’akakiiko omulamuzi Catherine Bamugemereire nti asazeewo eby’okwogera Olungereza abiveeko ayogere mu lulimi lwe oluzaaliranwa era n’akkirizibwa.
 
Obujulizi obwaleeteddwa mu kakiiko bulaga nti Echonga yali wa poliisi naye bwe yatandika okufiirwa abaana yaddangayo mu kyalo ng’aziika wa baganda be kubanga teyalina ttaka okutuusa bwe baamuwa aw’okuzimba.
 
Kigambibwa nti bwe yawummula ne yeefuga ettaka lyonna ng’agamba nti kitaawe yalimulekera era n’atandika okugobaganya abantu abaaliko ng’ayambibwako mutabani Fred Enanga.
 
Looya Byenkya bwe yamubuuzizza oba ekyamwefuza ettaka ly’ekika lwa kutya kuswala kuddamu kufiirwa baana nga talina w’abaziika ng’ate musajja mukulu Echonga n’amuddamu nti eby’okuzimba mu kyalo yali yabirowoozaako nga tannatandika na kufiirwa.
 
Yakalambidde nti ettaka lyali lya kitaawe kubanga yalisengako mu 1941 nga kuliko nsolo za mu nsiko olwo n’abantu abalala naddala baganda be ne batandika okulisengako naye olw’okuba ye yalisookako lyafuuka lirye.
 
Akakiiko kaamutegeezezza nti eky’okuba ng’ayogera mazima nti kitaawe ye yasenga ku ttaka tekitegeeza nti lyafuukirawo lirye kyokka Echonga yasigadde akyakalambidde nti ettaka lyabwe kubanga kati balina n’ekyapa.
 
Ekyewuunyisizza akakiiko, ye Echonga eyatandika okugoba ku by’okufuna ekyapa ku ttaka lino mu 1977 kyokka n’akifuna mu 2018.
 
Baamubuuzizza emitendera gye yayitamu okufuna ekyapa nga tabinnyonnyola bulungi.
 
Mutabani we Enanga naye yayitiddwa okuwa obujulizi ku ngeri gye baafunamu ettaka lino. We buzibidde ng’akakiiko kakyawuliriza ensonga z’ettaka lino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...