TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasawo abaatikkiddwa e Makerere balaalise okuwawaabira yunivasite

Abasawo abaatikkiddwa e Makerere balaalise okuwawaabira yunivasite

By Joseph Makumbi

Added 16th October 2019

ABASAWO 151 abaatikkiddwa ku yunivasite e Makerere mu January w’omwaka guno batiisizza okutwala abakulira ettendekero lino mu mbuga z’amateeka bwe batabawa bbaluwa zaabwe ezibakakasa kukola mulimu gwe baasomeredde.

Basawo1 703x422

Abamu ku basawo ababanja Makerere ebbaluwa zaabwe nga bakutte ebipande oluvannyuma lw’olukuhhaana lwa bannamawulire.

Bya JOSEPH MAKUMBI
 
ABASAWO 151 abaatikkiddwa ku yunivasite e Makerere mu January w’omwaka guno batiisizza okutwala abakulira ettendekero lino mu mbuga z’amateeka bwe batabawa bbaluwa zaabwe ezibakakasa kukola mulimu gwe baasomeredde.
 
Abasawo bano beeronzeemu akakiiko akabakulembera ne batuuza olukungaana lwa bannamawulire ku Galloway House e Mulago ne balaga obutali bumativu.
 
Dr. Enos Kigozi amyuka ssentebe waabwe yagambye nti, baatikkirwa mu January w’omwaka guno era yunivasite bagiwadde ebbanga lya myezi munaana nga balinze babawe ebbaluwa zaabwe ezibakakasa nti baatikkirwa.
 
Kigozi yagasseeko nti, wiiki omukaaga eziyise, baawandiikira amyuka cansala wa Makerere, Pulof. Banarbas Nawangwe nga bamutegeeza ensonga zaabwe naye tebaddibwangamu.
 
Ono yagambye nti, bawadde abaddukanya Makerere ebbanga lya wiiki emu yokka okubawa ebbaluwa zaabwe.
 
Dr. Bill Wambaka akulira banne yagambye nti, basomye emyaka etaano ne bagattako n’omulala mulamba gwa kugezesebwa ne gibeera emyaka mukaaga nga balina essuubi nti bagenda kuddizza ku bazadde baabwe ababaweeredde wabula basobeddwa ekyokukola.
 
Yagasseeko nti, kiswaza okusoma n’otikkirwa ate n’osigala ng’okyasaba bazadde bo ssente ezikubeezaawo, n’agamba nti ssinga yunivasite tebakolerako mu bbanga lye bagiwadde bagenda mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.