TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bagasimbaganye n’abeebijambiya abagambibwa okubalumba

Bagasimbaganye n’abeebijambiya abagambibwa okubalumba

By Joseph Makumbi

Added 16th October 2019

ABAASIMATTUKA abeebijambiya e Mukono bagasimbaganye n’abagambibwa okubeera abatemu, Meeya w’e Lugazi n’asaba abeebyokwerinda okwongera okunoonyereza.

Bijambiya1 703x422

Christine Mirembe ng’akunya Dan Kalule omu ku baakwatiddwa.

Bya JOSEPH MAKUMBI
 
ABAASIMATTUKA abeebijambiya e Mukono bagasimbaganye n’abagambibwa okubeera abatemu, Meeya w’e Lugazi n’asaba abeebyokwerinda okwongera okunoonyereza.
 
Nga September 26, 2019 abajaasi ba UPDF abakuuma ku Satellite e Mpoma nga bali wamu n’aba LDU, baakutte abasajja babiri okuli Paddy Kalule amanyiddwa nga Dan ne Geoffrey Kayiwa ngabalumbye Christine Mirembe Nagawa ne Dorah Nalumu e Nama mu disitulikiti y’e Mukono babatemeeteme.
 
 eeya babazi Meeya Mbabazi

 

Abajaasi ba UPDF ne LDU, abasibe baabakwasizza ekitongole kya Internal Security Organization (ISO) ekyasooka okukwata Kalule ng’ali n’ekibinja ky’abasajja nga bagenda kutta omusawo w’e Kasawo mu Mukono, Dr. Tonny Busuulwa gwe baali bateebereza okubeera ne ssente.
 
Ku Ssande, Nagawa, Nalumu ne Deo Mbabazi, Mmeeya w’e Lugazi baagasimbaganye ne Kalule okusobola okukakasa oba ddala ye musajja eyali abalumbye.
 
Abatemu baalina enteekateeka olumala okutemula Nalumu ne Nagawa, balumbe amaka ga Mmeeya Mbabazi agali e Lugazi naye bamutemule nga balumiriza
nti, omusuubuzi w’ettakan’emmotoka enkadde e Mukono, Zakaria Zzungumeera ye yabadde abapangisizza.
 
Zzungumeera naye yakwatiddwa ku Lwomukaaga nga October 5, 2019 n’ayimbulwa ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
 
Nalumu yasonze ku Kalule nti ye musajja gwe yalaba ng’abajaasi bamukutte bwe baali babalumbye okubatemaatema.
 
Wabula Meeya Mbabazi yagambye nti, abasajja abagamba nti baabaguze okutta abantu beetaaga okwegendereza banoonyerezebweko okusobola okuzuula ekituufu kubanga abamu baba bawaayiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup