TOP

Dj Frank Jay ebitaala byamuta

By Martin Ndijjo

Added 16th October 2019

Dj Frank Jay takyasabirwa. ali Butuluki akuba baayo miziki ayoola ssente.

Djj 703x422

Dj Frank Jay n'ebyana

“Nalinya kiraasi, emiziki kati ngikuba na banene” Bwatyo Dj Frank Jay bwatandise ng’ayogera ku bulamu bwe, gy’ali ne ky’aliko.

Oluvannyuma lw'ebbanga nga asiriikiridde mu ggwanga talimu n’abawagizi be beebuuza gye yabuulira ne ky’aliko,  

Francis Yiga amanyiddwa nga Dj Frank Jay eyaali DJ w’omuyimbi Ragga Dee omutongole agamba ali bulungi era buli kimu kitambula bulungi mu kiseera kino ali mu ggwanga lya Butuluki (Turkey) gye yagenda okwongera okusoma n’okukuguka mu by’emiziki.  

j yiku kkono ne j rank ayDj Ayi(ku kkono) ne Dj Frank Jay.

Asoma ‘sound mastering’ ku tendekero lya ‘Modern Music Academy mu kibuga Istanbul mu kiseera kye kimu nga bwakola okufuna ssente ezimubeezaawo.

Omulimu akola gwa kutabula miziki mu kimu ku bifo ebisanyukirwamu ebisinga okuba eby’omulembe mu Istanbul ekimanyiddwa nga ‘Afro Istanbul night club’.

Dj Frank Jay ajjukirwa ennyo olw’oluyimba lwe ‘Arsenal musituke’ lwe yakola ne Dj Dan agamba teyeejusa kugenda bulaaya kubanga ng’ogyeko okusoma, afunye omukisa okusisinkana n’okukolako n’abayimbi abanene ssaako ba DJ ab’amanya okuli;

Rude boy (Paul Okoye) eyaali omu ku ba P-Square, DJ Ayi (Dj wa Timaya), Omunigeria Phyno n’abalala.

 ud boy ku kkono ne j rank ay Rud boy (ku kkono) ne Dj Frank Jay.

agamba kati afunye obukugu n’obumanyirivu obumala era tasuubira nti waliwo Munnayuganda ayinza okumuwunyamu mu kutambula emiziki.

Yiga olimu eyeeyita ‘The triple threat’ olw’ebitone bye ebisatu okuli; okusunsula n’okutabula emiziki, okukola obwa pulodyusa n’okuyimba,

Bwabuuziddwa ddi lwasuubira okudda mu ggwanga agambye nti ali mu nteekateeka za kudda omwaka ogujja atandikewo situduyo ey’omulembe mu Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...