TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukungu agobye ffamire ye mu muka n’awasizaamu omukazi omulala

Omukungu agobye ffamire ye mu muka n’awasizaamu omukazi omulala

By Musasi wa Bukedde

Added 17th October 2019

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Namaalwa1 703x422

Nyanzi ne Namaalwa nga bakyali mu mukwano.

Bya MUSASI WAFFE
 
OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.
 
Laniah Namaalwa ne Sulaiman Hassan Nyanzi abatuuze b’e Kireka Bbira Village mu muluka gwa Nakabugo mu disitulikiti y’e Wakiso, be baafunye obutakkaanya Nyanzi n’agoba Namaalwa mu nnyumba n’awasizaamu omukyala omulala.
 
Namaalwa oluvannyuma lw’okugobebwa mu maka yategeezezza nti bba yamugobye asobole okuwasiza mu nju ye omukyala omulala. Yannyonnyodde bw’ati; Mmaze ne baze emyaka mwenda era tulina abaana basatu bonna bawala.
 
Baze mukozi wa gavumenti akola ogw’obubalirizi mu kitongole kya National Planning Authority, naye mbadde simufunangamu buzibu bwonna bukya mufumbirwa era
yankyusa ne nva mu Bukatoliki ne nzira mu Busiraamu.
 
 amaalwa ngannyonnyola Namaalwa ng'annyonnyola.

 

Mu kusooka nali mpitibwa Grace Namaalwa naye bwe nasiramuka ne ntuumibwa Laniah era ng’omwami wange muwa ekitiibwa ekimugwanira.
 
Wabula nga April 22 omwaka guno nafuna obuzibu, baze bwe yakomawo awaka ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi n’ajja n’ekidomola ky’amafuta g’ettaala kyokka mu
kujja yalina obusungu era abaana bajja gy’ali okumusanyukira n’abakambuwalira.
 
Baayiwa amafuta mu nnyumba mu butanwa nabo n’agabayiira n’atulagira ffenna okuva mu nnyumba nga tannatutuusaako bulabe.
 
Embeera eno yampitirirako ne mpita abeebyokwerinda mu kitundu nabo n’abeefuulira
n’abagoba. Bano baasalawo okutegeeza ssentebe Mathias Ssengonzi eyajja ne poliisi y’e Bulenga ne bamukwata era baamuggalira mu kaduukulu gye yamala ekiro kimu
n’ayimbulwa.”
 
Namaalwa agamba nti yagenda ku poliisi e Bulenga n’aggulawo omusango gw’obutabanguko mu maka (Domestic violence) oguli ku fayiro nnamba SD: 60/08/06/10 ne CRB 841/2019 nga gwatuuka ne mu kkooti e Wakiso.
 
Yagasseeko nti oluvannyuma lw’embeera y’okwagala okubatuusaako obulabe yasalawo amusegulire n’adda mu maka ga bakadde be e Kansanga gy’abeera n’abaana be wabula nti bba yagenda mu maaso amaka n’agawasizaamu omukyala omulala nga ne ku ggeeti yateekako omukuumi w’emmundu.
 
Yagambye nti yagezaako okusaba bba obuyambi bw’abaana ne yeerema kwe kwekubira enduulu ewa minisita Florence Nakiwala Kiyingi kyokka nti bba olwategeera
nti bamuloopye yasalawo nga May 20 omwaka guno okufuna bannamateeka abaawandiikira minisita Nakiwala nga bamulambululira ensonga ezaavaako ababiri bano okwawukana nga n’omusango baagutwala mu kkooti ekyawaliriza
minisita ensonga okuzivaamu n’amukwasa aba Justice Centre Uganda abaamuyambako okutambuza omusango guno mu kkooti e Wakiso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...