TOP

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua Natooro

By Musasi wa Bukedde

Added 17th October 2019

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Stabua2 703x422

Kojja Kitonsa nga akwasa Stabua akakadde ka ssente

“Kiwedde! Mbalinze enkya (Lwakutaano) ku Obuligatto tusanyukire wamu nga bwe mbakuba omuziki.” Bwatyo Stabua Natooro bwatandise ng'ayogera ku konsati ye etuumiddwa ‘Enyweera Sestressinga’ ewagiddwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde.

Olunaku lwa leero ebbugumu lyeyongedde mu konsati eno abantu ab’enjawulo bwe bavuddeyo okulaga Natooro obuwagizi nga bagula tikiti n’emmeeza.

Kojja Kitonsa owa Bakitonsa Herbal Group aguze emmeeza ya kakadde kamu era ono akoowodde abantu okweyiwa mu konsati eno enkya.

 wano nga bawanikayo ebyuma wano nga bawanikayo ebyuma

Stabua olunaku lwa leero alumazzeko atalaaga ebitundu by’omu maseekati ga Kampala eby’enjawulo omubadde akatale ka Owino n’ewa Kisseka abasuubuzi gye bamulagidde obuwagizi.

Ono era ategeezezza nga bw’amaze omwezi mulamba ng’atendekebwa n’okuwawula eddoboozi yeetegese ekimala okukuba abawagizi be emiziki. Awerekeddwako abayimbi bangi nabo abeesunze konsati eno.

Ku Obligatto ab'ebyuma bamaze okubiteekayo okuyingira enkya 20,000/- ne 50,000/- VIP ate emmeeza akakadde kamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza