TOP

Agambibwa okuwoowa Kenzo ne Rema abyegaanye

By Josephat Sseguya

Added 17th October 2019

Sheikh ono okuvaayo kiddiridde Kenzo wiiki ewedde okutegeeza nga Muzaata bwe yamuvumidde obwereere n’amulangira okubeera akalenzi ka ‘laavunniga ssemyekozo’ akatasobola kuwasa. Mu busungu obwaddirira okumulengezza, Kenzo yategeeza nga bwe yawoowebwa ne Rema.

Sheikh1 703x422

Sheikh Ismail Ssebuliba ng'annyonnyola.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA
 

SHEIKH agambibwa okuwoowa Eddy Kenzo ne Rema Namakula azuuse n’attottola byonna ebyaliwo ku mukolo gwe baaliko. 

Al Hajji Ismail Sebuliba abangi gwe baakazaako erya Khalifa Muto agamba nti ye Sheikh w’ekibiina kya Big Talent ekikulirwa Kenzo era aludde nga ye Sheikh w’aboomukwano abo (Kenzo ne Rema). 

Sheikh ono okuvaayo kiddiridde Kenzo wiiki ewedde okutegeeza nga Muzaata bwe yamuvumidde obwereere n’amulangira okubeera akalenzi ka ‘laavunniga ssemyekozo’ akatasobola kuwasa. Mu busungu obwaddirira okumulengezza, Kenzo yategeeza nga bwe yawoowebwa ne Rema.



 ema ngagabula enzo ne famire yaabwe nga bakyali mu mukwano Rema ng'agabula Kenzo ne famire yaabwe nga bakyali mu mukwano.

 



 

Muzaata eyali ayogerera ku mukolo Rema kwe yakyaliza bba omupya, Hamza Sebunya ewa ssenga we e Naggulu, era yagamba nti akalenzi bwe kaba kagamba nti kaagala okuwasa omukazi anaakayisa nga nnyina waako kagende kawase nnyina waako.

Wano Sebuliba we yasinzidde n’asalawo okuvaayo asale eggoye ku kituufu ekyaliwo mu 2015 Kenzo ne Rema lwe baamutuukirira nga baagala okukola akiika y’omwana waabwe, Aamal bwe yali wa myezi mukaaga.

 

Agamba nti amaze akabanga ng’alumwa olw’obugulumbo Kenzo ne Rema bwe bazze bayitamu ng’asirise naye w’atuukidde okuvaayo ng’alaba kisusse n’asalawo okwogera amazima ku byaliwo.

 

BYATANDIKA BWE BITI;

Rema yali aludde ng’ansaba mmugambire Kenzo nga nze eyali akola nga ‘kkanso’ waabwe, amuwase mu mateeka.



Eddie Kenzo ne Rema beeraze amapenzi ku siteegi ne balumya abateesi

Eddie Kenzo ne Rema beeraze amapenzi ku siteegi ne balumya abateesi





Agamu ku magezi ge nnasala nga tukungaanya be baali bansabye okubakulemberamu ku mukolo gw’akiika y’omwana waabwe Aamal.

 

Nga batuuse ku akiika, kye nasookerako kwe kubasaba bakole omulimu omunene ogwali gubabanjibwa bombi ogw’okuwoowa.

 

Muganda wange Ediriisa Musuuza yantegeeza nti essaawa eyo yali teyeetegekedde kuwoowa Rema wabula n’ansuubiza nti agenda kukikola essaawa yonna.

 



 enzo ne ema nabaana baabwe nga bakyali wamu Kenzo ne Rema n'abaana baabwe nga bakyali wamu.

 



 

Nasanyuka nnyo era akiika y’omwana n’egenda mu maaso.

 

Twali Ntinda era nze nnabasooka okutuuka mu kifo, Rema n’addako Musuuza ye yasembayo.

 

Bino sibyogera kuwabya mbeera yonna naye mbyogera ku lwa bulungi bw’abaana abo Rema ne Kenzo n’omuzzukulu wange Aamal.

 

Amazima gokka ge gagenda okuleeta essanyu wakati waabwe. Bino mbyogera nga naakagenda mu bifo ebitukuvu e Mecca omulundi ogutali gumu ate nga ne Kenzo mmanyi nti yaakagenda mu bifo ebitukuvu ebyo eby’e Mecca ne Madiina Obusiraamu bwe tukkiririzaamu gye buva.

 

Bwe guba nga mukwano gwe gumusensedde, ayogere mazima naye ‘walayi’ Rema tetumuwoowanga.

 



Rema kati asula wa Hamzah

Rema kati asula wa Hamzah





 

Bwe kiba kituufu, waakiri wandibaddewo ebifaananyi ebiraga nga taata w’omwana, maama oba omuko w’ali nga Musuuza awaayo amahale.

 

Ayinza okuba nga ye omukolo ogwaliwo n’okuba nti twali twabyogerako mu kadde ako kennyini, yalowooza nti olwo okuwoowa kwali kubaddewo.

 

Bwe mba nga nnimbye nga ddala obulimba kwe nnyimiridde, nnannyini Ggulu n’ensi antwale, nfe.



Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo ne Sheikh Muzaata

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo ne Sheikh Muzaata

 

Ziizino entalo Sheikh Muzaata z'azze alwana

Ziizino entalo Sheikh Muzaata z'azze alwana





 

Tubaddenga tubeera ne ppate ez’enjawulo eza sukuru kwebaza bwebaza Mukama by’azze atutuusaako.”

 



Abantu boogedde ku bigambo bya Muzaata

Abantu boogedde ku bigambo bya Muzaata







Okukyala kwa Rema Namakula mu bifaananyi

Okukyala kwa Rema Namakula mu bifaananyi





 

Bwe yabuuziddwa kye yakolawo nga ye Sheikh waabwe ng’amaka gaabwe gatabuka yazzeemu bw’ati;

“Waliwo ebintu ebimu bye saayingirangamu. Nze eby’okutabuka kwabwe nabiwulirako naye ate nga siri ku mutimbagano gwa nsi yonna nga sirina bwe mbalaba ate nga kwe mpulira babyogerera. N’essimu olumu nze sibeera nayo era abaamawulire mwe munnoonyezza.



 

Bwe nawulidde nti batabuse ne Rema n’afuna omusajja omulala era nga nabiwuliridde mu mawulire.



 



Rema ayogedde ne Kenzo ku ssimu

Rema ayogedde ne Kenzo ku ssimu





 



[image_library_tag f5dcce9f-89d8-4b7c-b6bd-d6f9d7e00842 275x153 alt="Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja wa buvuyo, yakulirako akeediimo ku Bilal e Wandegeya!" ]

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja wa buvuyo, yakulirako akeediimo ku Bilal e Wandegeya!





 

Naye kye mbasaba babeere bakkakkamu. Rema yafunye omusajja omulala era nsaba ne Musuuza afune omukyala.



Obukwakkulizo Rema bwe yawa dokita Ssebunya

Obukwakkulizo Rema bwe yawa dokita Ssebunya





 

Ate nsaba oyo Rema gwe yafunye naye aleme kutwala bintu nga bw’alabye kubanga waliwo obudde naye bwe buyinza okumwonoonekera nga tategedde, kale talwawo, awoowe mwana munne.

 

 



 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...