TOP

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa

By Edward Luyimbazi

Added 17th October 2019

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa kiddiridde kkamera za poliisi okumulaga ng’ali ku lusozi lw’e Mutungo mu biseera Tusingwire we baamukubira akatayimbwa bwe yali akola dduyiro.

Mutungo2jpgrgb 703x422

Lubega (wakati) mu mujoozi ogulimu ebikuubo ebyeru n'ebiddugavu nga poliisi eyaza ewuwe e Mutungo zooni 4. Ku ddyo Ben Kasozi.

OMU ku bavubuka abateeberezebwa okuba omubbi abaakubye akulira okunoonyereza ku misango ku poliisi ya CPS, Joshua Tusingwire akatayimbwa ku mutwe akwatiddwa poliisi y’e Mutungo.

Timothy Lubega 27, ow’omu Zooni 4 e Mutungo y’akwatiddwa poliisi y’e Mutungo nga bayambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa kiddiridde kkamera za poliisi okumulaga ng’ali  ku lusozi lw’e Mutungo mu biseera Tusingwire we baamukubira akatayimbwa bwe yali akola dduyiro e Mutungo Biina ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde ku ssaawa 2:00  ez’ekiro.

ubega nga poliisi emujja ewuwe akati ye bbodabboda gye bagamba gyabadde akozesa mu bumenyi bwamateekaLubega nga poliisi emujja ewuwe. Wakati ye bbodabboda gye bagamba gy'abadde akozesa mu bumenyi bw'amateeka.

 

 Omumyuka w’omwogezi wa Poliisi owa Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti Lubega babadde bamunoonya ku misango egy’enjawulo egy’okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka mu bitundu by’e Mutungo n’emiriraano.  

Yayongedde n’ategeeza nti mu kiseera kino bamubuuza ebibuuzo ku misango gino era singa bamaliriza okukuhhaanya obujulizi, waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe. Era nga waliwo n’abavubuka abalala be bakyanoonya ku misango gino.

Ben Kasozi, atwala ebyokwerinda mu Zooni eno agamba nti, Lubega yalonkomeddwa abamu ku bavubuka be baakutte mu bikwekweto bye baakoze ne poliisi mu bitundu bino n’emiriraano era nga bulijjo bamunoonya oluvannyuma  lw’omuze gw’okukuba abantu obutayimbwa ne babbibwa okweyongera mu kitundu kino.

 Yagambye nti Lubega alina abavubuka b’akolagana nabo era nga kigambibwa nti y’abadde abagabira ebitundu gye balina okubbira nga yeeyambisa bboodabbooda ye okubakuhhaanya.

 ubega agambibwa okukuba omuserikale Lubega agambibwa okukuba omuserikale.

 

Kasozi ategeezezza nti abamu ku bavubuka be baakutte mu bikwekweto bino abamu baatwaliddwa mu kkooti ne babasindika mu kkomera e Luzira. Yagambye nti akyalina obuzibu bw’abatuuze abamu ate abali mu kumutiisatiisa nga bagamba nti yeenyigira mu kukwata abaana baabwe.

Kasozi abalabudde nti tajja kutiisibwatiisibwa era agenda kweyongera okukola ebikwekweto ng’ali wamu ne poliisi okulaba ng’afunza abavubuka bonna abeenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Lubega yeegaanyi ebyokwenyigira mu bubbi n’agamba nti abatuuze bamuwalana kubanga mu myaka 8 emabega yali anywa enjaga  ne balowooza nti abba kyokka ng’ekituufu teyali mubbi. 

 Yasalawo okuva ku kunywa enjaga n’alokoka n’afuna ne ssente mu mirimu gy’obwabbulooka bw’amayumba n’ettaka n’agula ppikipiki mw’aggya ssente.

Waliwo n’abavubuka abalala abaakwatiddwa okuli Kevin Kayima ne Kididi nga nabo babattebereza okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka mu bitundu bino. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...