TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata

By Martin Ndijjo

Added 17th October 2019

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Muza1 703x422

abavubuka nga bakola effujjo ewa Muzaata

Abawagizi b’omuyimbi Eddy Kenzo bongedde okutabukira Sheikh Nuhu Muzaata.

Leero balumbye amaka ge agasangibwa Keti Falawo e Kawempe gye beekalakaasirizza n’okukola effujjo.

 abavubuka nga bamansa piraawo ewa uzaata abavubuka nga bamansa piraawo ewa Muzaata

Bagenze n’omuccere gwa piraawo n'ebifi by’ennyama bye bamansizza ku geeti ye nga bwe bamulangira nti “Muzaata kirabika piraawo gwe bakugabula ku mikolo y’akutabula nodda mu kuvuma abantu kati wuuno tumukuleetedde n’ennyama ovve ku Kenzo.”

 owa poliisi akuuma ewa uzaata ngafulumye okulaba ekituusewo owa poliisi akuuma ewa Muzaata ng'afulumye okulaba ekituusewo.

Abavubuka bano nga bakulembeddwamu Muhammadi Nsubuga, Tomas Bagonza ssentebe wa L.1 mu Katanga ne Elias Katongole abeeyise abawagizi ba Kenzo era abalwanirizi b’eddembe bagamba nti Muzaata okug’aana okwetondera Kenzo kye kibawaliriza okwekalaakasa mu mbeera eno.

Batisatisizza nti singa teyeetonda bagenda kukola ekisingako wano.

 

Agambibwa okuwoowa Kenzo ne Rema abyegaanye

 

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga Kenzo

 

Omukolo gw'okukyala kwa Rema mu bujjuvu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam