TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga Kenzo

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga Kenzo

By Martin Ndijjo

Added 17th October 2019

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata Batte.

Kenzomuzaata 703x422

Kenzo ne Muzaata

Bya MARTIN NDIJJO
 
MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata Batte.
 
Ayagala Sheikh Muzaata yeetonde kubanga yasiiwuuse empisa n’ayogera ebigambo ebitagya mu kitiibwa kye nga munnaddiini. Lokodo yategeezezza Bukedde eggulo nti ennaku zino abadde akubira Muzaata essimu nga takwata kati ekiddako agenda kufulumya ekiragiro ekimuyita ng’akozesa offiisi ya Supreme Mufti atwala Kibuli mu ofiisi ye.
 
“Nga minisita akwasisa empisa, siyinza kusigala nga ntudde nga munnaddiini nga Muzaata asiiwuuka empisa.
 
Ebigambo Muzaata bye yayogedde ku Kenzo n’engeri gye yeeyisizzaamu mbivumirira era njagala yeetonde.
 ema ne bba omupya sebunnya Rema ne bba omupya Ssebunnya

 

 
Kenzo mwana eri Muzaata era omuntu ali mu kiti kya taata mmusuubira kubuulirira na kusomesa so si kukosa muntu nga bwe yakoze.
 
Njagala Muzaata akomye omuze gw’okusinziranga ku mikolo n’abaako abantu b’alumba kubanga ekyo eddiini si kye emulagira okukola.
 
Mu kiseera kye kimu, Fr. Lukodo awadde Kenzo amagezi okukkakkana ng‘ensonga ze ne Muzaata bwe zikolwako. “Ensobi tegolola nsobi kale Kenzo by’ayongerako eby’okwekalaakasa kikyamu. Mulaba ali buli wamu ne ku mikutu gy’amawulire era nkimanyi alumizibwa naye akkakkane.” Fr. Lokodo bwe yayongeddeko.
 
Ku Lwokubiri lwa wiiki eno, Kenzo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa ‘Face book live’ yalaze obutali bumativu ku ngeri ensonga ze ne Muzaata gye zikwatiddwaamu n’agamba nti yeewuunya abantu abamulumba n’okumuvuma ng’alwanirira eddembe lye kyokka Muzaata eyamujolonga tewali amugambako.
 
Abantu ab’enjawulo bavuddeyo okubaako kye bakola nga kigambibwa nti waliwo n’abaawandiikidde Supreme Mufti, Sheikh Sulaiman Kasule Ndirangwa nga bamusaba ayingire mu nsonga ezo.
 
Ye Kenzo yategeezezza nti bw’akomawo nga October 22, 2019, atuukira ku muzikiti e Kibuli kwekalaakasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...