TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu ayogedde ku biri mu famire

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu ayogedde ku biri mu famire

By Joseph Makumbi

Added 17th October 2019

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza nti ye kajiiko nattabula abaleetedde okubonaabona.

Kiwa1 703x422

Mohan Kiwanuka ne Beatrice Kavuma

Bya JOSEPH MAKUMBI NE JOSEPH MUTEBI
 
EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza nti ye kajiiko nattabula abaleetedde okubonaabona.
 
Beatrice Kavuma Kiwanuka annyonnyola nti, ye mukyala mukulu era bba gwe yasooka okuwasa mu 1976 nga baakamala emyaka 43 mu bufumbo mwe bazaalidde abaana bataano.
 
Yagambye nti, baalabagana ne Kiwanuka mu 1968 ne bafumbiriganwa
mu 1976 era omwaka ogwo mwe baazalira omwana waabwe asooka eyaddako ne bamuzaala mu 1979 ate eyaddako wa 1981 ne bazzaako omulala mu 1985 n’asembayo wa 1994.
 
Muky. Kiwanuka bino yabitadde mu kiwandiiko kyeyawadde emikutu gy’amawulire ng’atangaaza ku biriwo mu famire yaabwe, ebirabika nti byekubidde oludda lumu olwa muggyawe.
 
Kavuma alumiriza muggyawe Maria Kiwanuka nti, okuva lwe yayingira mu ofiisi nga dayirekita w’ebyobugagga bya bba mu May w’omwaka guno, embeera yaabwe yakyuka.
 
Yagambye nti, okuva mu June omwaka guno, tebalina mirembe, ebbaluwa ezibalagira okuva mu bizinensi ezaali zaabaweebwa okuggyamu ssente ezibabezaawo lwe zaatandika okufuluma.
 
Yagambye nti, bba yali yamuwa bizinensi nnya (4) ku bizinensi 100 z’alina mwe baba baggya ssente ezibabezaawo kyokka zonna baazibalemesezza.
 
Agamba nti bba yafuna obuzibu era ng’ebigenfda mu maaso byonna akakasa nti si yabikola.
alt=''

 

 
Yannyonnyodde nti, omwaka guno gwennyini, bba Kiwanuka yagenda e Bungereza era baamukebera ne bakizuula nti alina endwade ya ‘Dementia’ ereetera omuntu okwerabira era nga tesobola kuwona.
 
Abalina endwadde eno, obujjanjabi bwokka bw’aba ateekeddwa okufuna, bwa kubudaabudibwa.
 
Kavuma agamba nti, bba yafuna endwadde eno era ebiseera ebisinga yeerabira ne byabadde ateekeddwa okukola n’ebyo bye yakola edda nabyo n’abyerabira abantu abamuli okumpi kye baalabye ng’omukisa gye bali okwegazanyiza mu mmaali ye nga kino kye kyamuviiridde n’okwegaana Jordan Kiwanuka nti si mwana we yakuza mukuze.
 
Yagambye nti, Jordan ye mwana waabwe ow’okubiri gwe bazaala mu 1979 era ono ye yagenda mu kkooti ng’ayagala aweebwe obuyinza okulabirira eby’obugagga bya
kitaawe.
 
Kavuma yagambye nti, Jordan kino teyakikola yekka, baasalawo nga famire era olw’okubanga Jordan ye yali asinga okutegeera ebintu bya kkooti, kwe kumulagira
abakiikirire mu kkooti.
 
FAMIRE ETIISIBWATIISIBWA
Muky. Kiwanuka agamba nti, famire ye eri mu kutya kwa maanyi kubanga, waliwo abantu 30 abaalumba emu ku bizinensi ezaali zaabaweebwa ne babakasuka ebweru.
 
Bizinensi ne bagiwamba n’endala nazo ne bakola bwe batyo kyokka agamba nti tebamanyi ani yabawendula.
 
Yagasseeko nti, essaawa eno tamanyi kiki kigenda mu maaso kubanga n’ennyumba mwe basula baabagamba nti bagenda kugibagobamu era essaawa yonna bandibakasuka ku luguudo.
 

 
TEBABAKKIRIZA KULABA KIWANUKA
“Simanyi oba Kiwanuka mulamu oba mufu, tebatukkiriza kumulabako n’abaana baagendayo ne babagaana okuyingira amaka mwali, omuntu omu yamuliko yamwefuga yamutegeerera,” Kavuma bwe yategeezezza.
 
Yalaajanidde abakungu mu Gavumenti babayambe kubanga Kiwanuka yeetaaga obujjanjabi obumugwana wadde obulwadde bw’alina tebusobola kuwona.
 
Yagasseeko nti kye beetaaga nga bo, bakome okutiisibwatiisibwa, baddizibwe ne bizinensi bba ze yabawa okuggyamu ssente.
 
Mu kusooka, mutabani wa Kiwanuka ayitibwa Jordan, yatwala omusango mu kkooti ng’agisaba kitaawe akeberebwe omutwe kubanga alina ekizibu ebintu byonna byakola mu kiseera kino tabitegeera kino ne kiwa abantu omukisa okumukozesa ensobi bo
baganyulwe.
 
Wabula kkooti yagoba okusaba kuno era Kiwanuka alumiriza nti Jordan si mwanawe.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...