TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande lunyiinyitidde

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande lunyiinyitidde

By Lawrence Kitatta

Added 18th October 2019

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye obunkenke ne bweyongera wakati waabwe.

Kubbiri6 703x422

Kakande ne Ssennyonga.

©BukeddeOnline

 

 

 

 

 Bya LAWRENCE KITATTA

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye obunkenke ne bweyongera wakati waabwe.

Ekizimbe Ssennyonga kye yaguze lukuubo lwe lukyawula ku kkanisa ya Kakande, nga Ssennyonga agamba nti agenda kuteekamu kkanisa abuuliriremu enjiri afutize sitaani.

Eno y'entikko y’obutategeeragana obu­liwo wakati w'abasumba bano bombi, nga Paa­sita Ssenyonga aludde ekiseera ng’alumiriza Kakande nti si musumba mu­tuufu nti era alina ebintu bingi byakola mu kkanisa ye ebikon­tana n’obulokole.

Ekizimbe kino kiriko emyaliiro ebiri ng’ensonda zaategeezezza nti Ssennyonga yakiguze obukadde 2800 (obuwumbi 2 n'obukadde 800) okuva ku nnyiniko eyategeereke­seeko ertinnya erimu erya Balemesa.

 kizimbe sennyonga kye yaguze kiriraanye ekkanisa ya akande Ekizimbe Ssennyonga kye yaguze kiriraanye ekkanisa ya Kakande.

 

ENGERI SSENNYONGA GYE YAGUZEEMU EKIZIMBE KINO

Ssentebe wa zooni ya Kiwonvu omu­sangibwa ekkanisa ya Nabbi Kakande, Micheal Kiridde yannyonnyodde nti gye buvuddeko katono, Nabbi Kakande yatuukirira nnyini kizimbe kino n’amusaba okukimugulako nga bw'azze agula abantu abamweto­olodde.

Balemesa yalamulira Kakande aka­kadde ka doola kalamba k'ayagala mu kizimbe kye kyokka Kakande ensimbi zino yaziraba nga nnyingi ng'ayagala kumuwa emitwalo 70 egya doola kyokka nnyini kizimbe ne yeerema.

Bino byonna byali mu lukiiko olwali kukubirizibwa ssentebe Kiridde era nti oluvannyuma lwa Kakan­de ne Balemesa okulemaganwa ku muwendo, Kakande yategeeza nnyini kizimbe atwale ekiseera yeerowooze nti bw'anaalaba ng’ensimbi zaamuwa zimuyisaawo, amutu­mire bakutule ddiiri ekizimbe akigule.

Oluvannyuma lw'abantu bano okulemagana, omuntu omu yadduka n’abbirako Ssennyonga ng'omugagga Balamesa bwe yali akitunda nti kyokka nga baali balemaganiddwa ne Kakande ku muwendo gwakitunda.

 kizimbe ekyogerwako Ekizimbe ekyogerwako

 

Ssen­nyonga bino olwamugwa mu matu, yadduki­rawo n’anoonya omugagga ne batuula era okukkakkana nga bakkirizig­anyizza Balem­esa n’asasulwa obuwumbi 2 n’obukadde 800. Ekyewuu­nyisa, ssente zino kumpi ze zimu Kakande ze yali aya­gala okusasula Balemesa kyokka n’azigaana ng’agamba nti ntono.

Kyokka ensonda zigamba nti wabaddewo enkolagana etali nnungi wakati wa Balemesa ne Kakande nga ab’omuliraano nti era Balemesa okugaana okukkiriza ssente za Kakande yalinga kiremya obutamuguza kizimbe kye.

Ssennyonga ekizimbe kino akigasse ku ttaka eddala lyazze agula okuliraana ekkanisa ye eya Christian Life Church e Bwaise, nga kumpi abalina ettaka bonna oku­muliraana azze abagula n’agaziwa. Emu ku famire eyaakasembayo okumuguza ettaka ye y’omugenzi Ssempeebwa kyokka ng’obuguzi buno bw'ajjamu okusika omuguwa mu baffamire ya Ssempeebwa.

Ensonda mu kkanisa ya Ka­kande zaategeezezza nti amawulire gano aga Ssennyonga okugula ekizimbe kino gaatabudde Kakande n’okutuusa kati yeebuuza Ssennyon­ga kyamwagaza okutuuka okugula ekizimbe okumuliraana

Omu ku bagoberezi b’omu kkanisa ya Kakande, Muky. Sylivia Mutonyi yagambye nti beeraliikirivu olw’ebiriwo kubanga Ssennyonga aludde ng’abalumba ng'abassaako bye batakola nti kyokka kati okuva lw'abasemberedde okumpi ayinza n’okubasuuliranga ebintu mu kkanisa mu kaweefube w’okubasaanyaawo.

 mabega wekizimbe ekyagguli ddwa nayo kkanisa ya akande Emabega w'ekizimbe ekyagguli ddwa nayo kkanisa ya Kakande.

 

 SSENNYONGA AYOGEDDE

OMUSUMBA Jackson Ssen­nyonga bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yakkirizza nti ekizimbe baakiguze era bagenda kutandika okukolerawo emirimu gy’obuweereza, okutendereza Katonda n’emirimu emirala mu bbanga ttono.

Yagambye nti ssente ezaaguze ekizimbe kino zaavudde mu kkanisa ye eya Christian Life Church e Bwaise era bamalir­ivu n’okugenda mu maaso nga bagula ebifo ebirala okugaziya obuweereza bwa Katonda.

Bwe yabuuziddwa lwaki asazeewo okugula ekizimbe ekiriraanye ekkanisa ya Ka­kande gwe bamaze ebbanga nga bagugulana n’okumulangira obulogo, Ssenyonga yagambye Bayibuli emulagira okugenda mu bifo sitaani w’akubye enkambi awo wennyini w’aba asinziira okusaabulula enjiri ey’obulimba era ky’akoze ne ku Kakande era takyejjusa.

  

alt=''

 Obutakkaanya bwa Ssennyonga ne Kakadde buvudde mabega

OLUTALO lwa Ssennyonga ne Kakadde okutuuka wano kyaddirira Senyonga oku­tongoza okusaba okwen­jawulo kwe yayita P5, kwe yalangirira nga kaweefube w'okufufuggaza abasumba baalumiriza okuba abafere n'okusabira abantu okusu­mululwa bwe yatandise.

Mu kusaba kuno azze alumiriza Kakadde bw'atali musumba era nti ebintu bye byonna abyesigamya ku ddogo. Mu kaweefube ono, Sennyonga ng'ayita ku ttivvi ye eya Top mu June wa 2017, yalaga abantu b'agamba nti baali bavudde mu kkanisa ya Kakande ne bawa obujulizi mwe baalumiriri­zanga Kakande nti yeenyin­gira mu bikolwa ebikontana n'Obulokole.

Mu September 2017, ebigambo byayiting’ana nti Kakande yali agudde ed­dalu. Ebyo okubaawo abantu ab'enjawulo abagamba nti baali basabira wa Kakande baali bamaze okulabika mu Christian Life Church e Bwaise ne bawa obujulizi nti Kakande yali yabuze, takya­lina maanyi kubanga omu­sota ogumuyamba okufuna amaanyi gwali gufudde.

Embiranye eno yatuuka ku ntikko pulezidenti bwe ya­genda mu kusaba ewa Senny­onga, n'atuuka okumutegeeza nga waliwo abasumba abazze beenyigira mu ttemu era nti balina n'entaana mwe bazze baziika abantu be batta.

Sennyonga yeeyama nti waakuwaayo obujulizi obuk­wata ku nsonga eno. 

 

 SSENNYONGA ALUMBYE NE BUJINJO

‘BULI wali embuga ya sitaani nja kugirumba ngisany­eewo’ Ssennyonga bwe yagambye n'annyonnyola nti bakyagenda mu maaso okugogola ebifo mu kaweefube w’okutaasa enjiri ya Kristu etyoboolwa abantu abamu.

Yayongeddeko nti eky’okulumba Kakande si kipya kuba kati yagifudde nkola buli w’asuubira okubeera ye ky’ayita sitaani ajja kukola nga Bayibuli bw’eragira nga yatandikira mu kisaawe Namboole bwe yasasula olunaku Olwokutaano olusooka mu wiiki mu mwezi gwa Octo­ber olwali lubeerako olukung’aana lwa Paasita Aloysius Bujjingo.

 

Ssennyonga yagambye nti Bujingo talina buyinza ku kisaawe ky’e Namboole era ke yamugobyeyo kati ob­wanga k’abwolekeze Kakande n’abalala b’ayita bannabbi ab'obulimba okutuusa lw’anaabawangula.

Kyokka Bujjingo azze amwanukula nti Ssenyonga ne bw’anamwepimako tajja kumutuuka.

Bujingo yalangidde Sennyonga okumweriggyako okuva ku kisaawe e Bugembe n’okudda e Namboole naye nga mu bifo byombi Bugingo y’asinza abantu.

Wano Bugingo we yasinzidde n’ajerega Sennyonga nti ‘omuntu bw’akusinga obuwanvu nga musitamye ate to­tawaana kumugamba nti tuyimirire tulabe akira munne’!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...