TOP

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC abaggya

By Musasi wa Bukedde

Added 18th October 2019

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 703x422

RDC omuggya Fred Bamwine (ku ddyo) ng'akwasa Ntulume (abadde akulira abakozi) ekirabo kye baamuwadde okumusiibula

Bya Joanita Nakatte

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza akulira abakozi omuggya ayitibwa James Nkata, ssentebe wa LC V Andrew Ssenyonga n’asaba abakozi abapya abaateekebwa mu bifo eby’enjawulo naddala ebiddukanyizibwa gavumenti okukola obulungi emirimu egibeera gibasuubirwamu n’obutawuliriza byogerwa ku be babeera basanzeewo ebyonoona ekifaananyi kyabwe ekiyinza okuvaako emirimu gyabwe okuzing’ama.

Yabadde ku mukolo ogwategekeddwa ku Summer Gardens e Mukono ogw’okwaniriza akulira abakozi omuggya, James  Nkata eyaggyiddwa e Mityana n’okusiibula abaddeko George Ntulume eyatwaliddwa e Buikwe ssaako okwaniriza omubaka wa Pulezidenti (RDC) omuggya Fred Bamwine.

 kulira abakozi omuggya ames kata ngayogerako eri abantu Akulira abakozi omuggya, James Nkata ng'ayogerako eri abantu

 

Ssenyonga yagambye nti, abasinga ku bo bava ku mulamwa ogw’emirimu egyabaleesa okukola ne badda mu kunoonyereza ebitabakwatako n’okuwuliriza eng’ambo ku bakozi bannaabwe be babeera basanzeewo ekintu ekikyasingidde ddala okugootaanya emirimu gya gavumenti ekivaako okukuubagana wakati mu bo n’obuteesigang’ana.

“Nsaba omukulu Nkata oleme okubeera nga bali abalala lwa nsonga nti, abantu aboogerera bannaabwe  babeera n’ebigendererwa omuli okusaanyawo enkolagana ennungi eyanditusobozesezza okututuusa ku buwanguzi, n’okutulemesa okukola emirimu gyaffe ekitali kirungi, noolwekyo abantu ab’ekikula kino olina okubeewala,” Ssenyonga bwe yagambye.

 sentebe ndrew senyonga ku kkono eorge tulume wakati nomu ku bagenyi abeetabye ku mukolo Ssentebe Andrew Ssenyonga (ku kkono), George Ntulume (wakati) n'omu ku bagenyi abeetabye ku mukolo

 

Mmeeya w’ekibuga kya Mukono, George Fred Kagimu yakuutidde Nkata ne Bamwine okutandikira ababaddeko we bakomye nga bakola ebyo ebigenda okukulaakulanya ekibuga kino wabula n’asaba Bamwine ak’ensusso okulaba ng’akola ku bizibu ebiruma bannamukono omuli abagagga abatanudde okubagobaganya ku ttaka lyabwe n’ensonga endala.

“Mbasaba okutuukiriza obweyamo bwammwe n’obutava ku mulamwa gw’emirimu gyammwe egibaleesezza mu kibuga kino kubanga ebizibu by’abantu bye mulina okukolako biyitirivu era twagala omutonzi abasobozese musobole okubeera ekyokulabirako eri abo ate abanaabaddira mu bigere olw’emirimu gyammwe emirungi gye munaaba mutukoledde nga ffe bannamukono,” Kagimu bwe yagambye.

 meeya eorge red agimu ngayogera ku mukolo Mmeeya George Fred Kagimu ng'ayogera ku mukolo

 

James Nkata, yasuubizza okukola n’amaanyi ng’atandikira ku ky’okulaba ng’abakozi bonna ku kitebe kya disitulikiti y’e Mukono batuukiriza bulungi emirimu egibasuubirwa n’okukomya eky’abamu okwebulankanya ku mirimu gyabwe.

Ntulume yeebazizza abakozi b’oku kitebe kya disitulikiti y’e Mukono abaakulembeddwa ssentebe Ssenyonga olw’okukolagana obulungi naye mu bbanga ly’amaze  nabo era n’abasaba okukolagana ne  Nkata eyamuddidde mu bigere basobole okutambuza obulungi emirimu gy’ekitebe kino. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...