TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bajjo ne Abitex bawadde Poliisi wiiki emu okukwata abaabakuba

Bajjo ne Abitex bawadde Poliisi wiiki emu okukwata abaabakuba

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2019

ABATEGESI b'ebivvulu Abbey Musinguzi owa Abtex Promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events bawadde poliisi nsalessale wa wiiki emu ng’ekutte abasajja abasatu abagambibwa okubakkakkanako ne babakuba mu maaso g’abasirikale.

Thumbnailabbey3 703x422

Bano basinzidde mulukungana lwa bannamawulire ku Muganzirwaza nga bali wamu ne Kasala Ibrahim Ssegerinya ,nakwanakanya emirimu mu kiwayi kya People Power mu gwanjuba.

Bano babadde bakutte ebipande bya bavubuka bebalumiriza okubakuba nga bano batwaliramu ne bannaamawulire abali bakwata ebyali bigenda mu maaso.

Bino byaliwo October 8,ku luguudo lwa kafumbe Mukasa bano bwe bali bagenzeyo okutunda emijoozi mu kaweefube waabwe gwe batumba ‘’Bail me out’’ gwe batongoza okununula abasiibe abali mu makkomera ag’enjawulo mu ggwanga abali ku misango emitono.

Bano balumiriza aduumira poliisi ya Kampala mukadde n'abasirikale okubapangira abavubuka bano abatusabo obuvune.

Ssegirinya ategeezezza nga bwagenda okukulemberamu Bajjo ne Abbetex okuwenja abavubuka ban o babakwatte babakwase poliisi singa eneremwa okubakwata.

Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirano yategeezezza nti bano tebalina musango gonna gwe bali baguddewo ku poliisi yonna ku bantu be balumiriza okubako .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza