TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi Wine mulabe wa nkulaakulana, yagenda mu Amerika n'ayogerera Uganda amafuukuule - Museveni

Bobi Wine mulabe wa nkulaakulana, yagenda mu Amerika n'ayogerera Uganda amafuukuule - Museveni

By Benjamin Ssebaggala

Added 19th October 2019

PULEZIDENTI Museveni agambye nti Bobi Wine mulabe wa Uganda mu nkulaakulana. Yagenda mu Amerika n’ayogerera Uganda amafuukuule ng’agaana Abazungu okujja okusiga wano ensimbi.

Look 703x422

“Ekyo kitegeeza oyo mulabe wa nkulaakulana. Bw’ogenda n’otegeeza abagwira nti tebateekwa kujja kusiga ssente mu ggwanga obeera oggudde olutalo ku nkulaakulana.

Kati lwaki ayagala yeeyagaliremu?” Museveni bwe yategeezezza ng’ayanukula ebibuuzo bya Alan Kasujja owa BBC.

Museveni yagambye nti asuubira ng’eyo y’ensonga lwaki poliisi esazaamu ebivvulu bya Bobi Wine kyokka n’akiggumisa nti tannaba kwogera ne poliisi kumunnyonnyola kawonvu na kagga naye alaba Bobi Wine ng’omulabe w’enkulaakulana.

Wabula omwogezi wa People Power, Joel Ssenyonyi yagambe nti Bobi Wine tagaanangako Bazungu kujja mu Uganda, bwe yagenda mu Amerika yabasaba balondoole obuyambi bwe bawa Uganda ng’ebyokulwanyisa kubanga babiwaayo kukuuma Bannayuganda kyokka abali mu buyinza ne bafundikira nga babikozesa kutulugunya bantu.

Museveni ng’ayogera ne BBC yagambye nti mu buyinza taliiwo kuyisa bivvulu era gavumenti ye teri mu kifo we bazannyira katemba.

Mu buyinza aliwo kukola ku nsonga ennene ezibobbya Uganda ne Afrika omutwe. N’ayongerako nti aliwo lwa bantu abaamulonda kyokka aba NRM abaamulonda bwe balimukoowa ne bamusaba aveewo ajja kutambula agende kubanga alina bingi ebimulindiridde okukolako mu maka ge.

Ssenyonyi yayanukudde nti pulezidenti Museveni yava mu nsiko ne banne nga baavu kyokka baamanyiiko mu kiseera kino bagagga bavundu, emyaka 33 gy’amaze mu buyinza obwavu bubadde buluma Bannayuganda we yasinzidde okubuuza nti ky’agamba emyaka egyo gyonna Bobi Wine y’abadde akotoggera enkulaakulana obwavu bulyoke bulume abantu!

Museveni yategeezezza Kasujja nti gavumenti tetulugunya bantu ng’abalyolyomi bwe bakimussaako kyokka ekola ku balabe b’eggwanga nga Bobi Wine

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi