TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

By Dickson Kulumba

Added 19th October 2019

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Kat1 703x422

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II azzeemu okukiggumiza nti essuubi lya Buganda ery’enkya be bavubuka abakuziddwa obulungi mu maka agalimu essanyu era agagoberera empisa n’ennono era wadde bayivu nga baagala Obwakabaka ng’era bagoberera n’obukulembeze bwa Buganda.
 
Obubaka buno Kabaka yabutisse Jjajja w’obusiraamu Uganda,Omulangira Kassim Nakibinge mu kuggalawo omusomo gw’ennono n’obuwangwa ogutegekebwa Abataka buli mwaka n'agamba nti Buganda ejja kusobola okubeera enywevu singa abaana bava buto nga bayigirizibwa ebikwata ku ggwanga lyabwe n’okusingira ddala ebikwata ku mpisa n’ebika byaabwe ng’omukolo gwabaddewo ku Lwokutaano October 18,2019.
 
“ Okusobola okunyweza essuubi lya Buganda ery’enkya nga twesigama ku maka amanywevu,abazadde balina okubeera n’omukwano awamu n’enkolagana enaasobozesa abaana okwegomba n’okweyisa obulungi,eno y’entandikwa ey’okugunjula abaana abataabe na nsonyi kwogera nti basibuka mu Buganda era Baganda,” Kabaka bweyagambye.

Yayaongedde n'ategeeza nti okwegaana n’okuvuma amawanga abantu mwebasibuka,kivuddeko abantu bangi obuteeguya n’okukola ebikolobero ku bannaabwe era n'asinziira ku kino okukubiriza abantu ba Uganda n’abalala bonna okwenyumiririza mu buwangwa bwaabwe.

 
“Empisa zaffe zituyamba nnyo okuzimba obumu,okwekkiririzaamu awamu n’obukulembeze obulungi. Bwolondoola obulungi abakulembeze abatawuliriza nsonga zaabo bebakulembera,abawamba ebintu by’abalala n’okunyigiriza abantu,oyinza okukizuula nti ekyo kisibuka mu maka gyebaakulira,”Obubaka bwa Kabaka bwebwasomye.
 
Omusomo guno gwatambulidde wansi w’omulamwa ogugamba nti “Amaka agatebenkedde gwe musingi gwa Buganda ey’enkya,’ nga ku lulwe Nakibinge yakubirizza abataka okukubiriza bazzukkulu bwabwe okwetaba mu bukulembeze obwa buli ddaala mu by’obufuzi ate babawagire mu lwattu ne mu kyama.
“ Tewali nnyo kyonokola mu Uganda oba awalala nga toli mu bifo bya buvunanyizibwa,olina okubeera ku mmeeza esalawo naye bwonobeera nga toliiyo bajja kukusalirawo,tusigale mu kukaaba.
 Omulembe gw’okwekubagiza gwaggwaako kati tulina naffe okufungiza nga buli wetusobola okubeera nga tubeerawo.
Obuzibu bwetusinga okusanga wano mu Buganda,abayivu bagaanye okubyetabamu,” Omulangira Nakibinge bweyagambye.
 
Bp. Silvester Kisitu ng’ono yatwala Obusumba bw’Abasodokisi obw’e Gulu n’obuvanjuba bwa Uganda nga yeyakikiridde Metropolitan Jonah Lwanga,Ssabasumba w’eklisia y’Abasodokisi mu ggwanga yasabye abagagga okukomya okutwalanga ebintu ebingi olumu nebyebatabatumye nga kino kyongedde okutiisa abavubuka bangi okugenda okwanjulwa kubanga tebalina nsimbi ziggula bintu eby’okutwala mu bazadde.
 
Katikkiro Charles Peter Mayiga yebazizza abataka olw’okutegekanga emisomo bwegiti kati emyaka ena era naasaba abazadde okwegendereza okukozesanga ebigambo ebyesitaza naddala abaana abato nga bwebitakwatibwa bulungi biyinza okuleeta obutabanguko mu maka. 
 
Ku lw’Abataka banne,Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka abakulu b’ebika Kayiira Gajuule Fredrick Kasibante asabye Katikkiro okwetegereza ensonga bbiri enkulu eziberalikiriza okuli okugatta Uganda mu mukago gw’amawanga g’Obuvanjuba bwa Afirika naagamba nti bwekiba nti Buganda bweyayingira mu Uganda eyawamu,ekyabonabonerayo naye gunabeera gutya mu mukago guno!
Ensonga endala eyeralikiriza abataka ya Lulimi Luganda oluvanyuma lwa gavumenti eyawakati okusalawo okutumbula oluswayiri neerekawo Oluganda,ekintu kyeyagambye nti kigenda kulutta.
 
Omulangira Nakibinge yatongoza ekitabo ekyawandiikiddwa Abataka nga balambika Obuganda ekyatumiddwa “ Ennambika entongole ekwata ku kwanjula n’okwanjulibwa mu Buganda” nga bino byaava mu musomo gw’Omwaka oguwedde.
Abasomesa abakulu kwabaddeko Mukyala Joyce Mpanga ne Dr. Anatoli Kiriggwajjo nga bayogedde ku nyweza obukulembeze mu maka n’ebika nga bwebunalongoka bwakuyamba okuzza Buganda ku ntikko.

Omutaka Kyadondo Mbugeramula Kasirye,Kayiira Gajuule,Minisita w’obuwangwa e Mmengo David Kyewalabye Male,Omutaka Samuel Walugembe bayogeddeko eri abantu abakunganye.

 
Omukolo gwetabiddwako Bakatikkiro ba Buganda abawummula Joseph Mulwanyammuli ne Dan Muliika, Namasole Margaret Siwoza, Ssabaganzi Emmanuel Ssekitoleko,Minisita w’amawulire Noah Kiyimba n’abalala beetabye mu musomo guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...