TOP

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala mukulu

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2019

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga ku mpapula ziraga nti, Beatrice Luyiga Kavuma Kiwanuka mukyala we omutongole.

Kept 703x422

Looya Francis Buwule.

Francis Buwule munnamateeka ate omuwandiisi wa VISA Investments Ltd omwegattira kkampuni za Kiwanuka zonna yagambye nti, Kavuma tebamumanyi nga muka Kiwanuka wabula bw’aba alina obukakafu abubawe.

Kavuma ku Lwokusatu yavuddeyo n’ategeeza nti, ye mukyala wa Kiwanuka omukulu era baafumbiriganwa mu 1976 nga bamaze emyaka 43 mwe bazaalidde n’abaana bataano okuli ne Jordan Ssebuliba Kiwanuka.

Yagambye nti, obufumbo bwe balimu, bwa bakyala bangi era muggya we, Maria Kiwanuka bba yamuwasa wayise emyaka 10 nga baafumbiriganwa dda. Alumiriza nti, emivuyo gyonna n’okubonaabona kwe n’abaana be, kwatandise mu April omwaka guno nga Maria Kiwanuka amaze okufuuka dayirekita wa kkampuni za Kiwanuka.

Yagambye nti, ku bizinensi za Kiwanuka zonna, yali yabawaako bizinensi nnya (4) mwe baba baggya ssente ezibabeezaawo kyokka bizinensi zino zonna, zitundiddwa nga n’amaka ge balimu e Kololo basulirira kukasukibwa bweru kubanga baakibalaalika dda.

Kyokka Buwule yagambye nti, Kiwanuka ye yeetundira emmaali ye ng’alaba tekyavaamu ssente okwongera mu bizinensi endala n’okusasula amabanja.

Kavuma yagambye nti, ebiriwo essaawa eno, si bba Kiwanuka y’abikola waliwo omuntu amuli okumpi eyeeyambisizza embeera y’obulwadde bwe okwegazaanyiza mu mmaali n’agamba nti, n’okwegaana mutabani we Jordan Ssebuliba Kiwanuka si kusalawo kwe.

Yannyonnyodde nti, Kiwanuka yafuna endwadde y’okwerabira (Dementia) nga kati ne byaba ateekeddwa okukola oluusi bimusiimuuka mu mutwe ne bye yakola edda ebimu n’atabijjukira.

Yagambye nti, baamutwala e Bungereza n’akeberebwa omutwe ne kizuulwa nti teri ddagala lisobola kumuwonya.

Ku Lwokuna, Buwule yawakanyizza ebimu ku byayogeddwa Kavuma eyasooka n’agamba bye baayogedde byonna nti tebaagala byabugagga bya Kiwanuka bulimba busa kubanga baddukira mu kkooti nga bagisaba erangirire nti ebyobugagga ebiri ku poloti okuli Bwerenga, Akiibua Road ne Seven Trees ku Golf Course nti kitaawe yabimuwa.

“Kati kiki ekyabatwala mu kkooti bwe baba tebaagala mmaali era bwe bagamba nti Kiwanuka omutwe tegutegeera bwe baagenda mu kkooti, yakizuula nti talina kizibu kyonna ku bwongo era asoobola okuddukanya ebintu bye kati ate ggwe eyaddukira mu kkooti obeera oyagala ki?” Buwule bwe yagambye.

Yagasseeko nti, bwe baamaze okulaba nga gubasinze mu kkooti ate ne badda mu mawulire abantu baabulijjo basalire Kiwanuka omusango nga tasobola kwewozaako kye yagambye nti kikyamu. Yagasseeko nti, ayagala basigale mu kkooti y’eba esala amazima.

“Mukyala Kavuma bw’agamba nti yafumbiriganwa ne Kiwanuka, ffe tetulabanga ku kiwandiiko kiraga nti Kavuma yafumbiriganwa ne Kiwanuka mu mateeka oba obufumbo bw’ensi okuggyako Maria Kiwanuka satifikeeti y’obufumbo bwe twagirabako.” Buwule bwe yagambye.

Mu bigambo bya Buwule byonna yafubye nnyo okulaba nga bw’aba ayogera ku Kavuma, tamugattako linnya Kiwanuka okulagira ddala nti, talina bukakafu bwonna nti ababiri bano baagattibwa mu bufumbo obutukuvu.

Yagambye nti, Kavuma bwaba yaliko muganzi wa Kiwanuka ne bazaala abaana tekitegeeza nti yamufumbirwa n’agamba nti, muka Kiwanuka omutongole gw'amanyi ye Maria Kiwanuka.

ALUMBYE SSEBULIBA OKUKAAYANIRA KITAAWE KU MYAKA 40

“Ssebuliba akaayana nti mutabani wa Kiwanuka, wa myaka egisoba mu 40, takyalabirirwa kati ayagala ki? Kukakasa nti Kiwanuka kitaawe.” Buwule bwe yeebuuzizza.

Yagasseeko nti, Kiwanuka yali yasaba dda Ssebuliba okukeberebwa nadda mu kwebuzaabuza ate kati beekwasa nti abasawo bayinza okubuzaabuza obujulizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...