TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rema akangudde ku Doboozi agambye kati mukazi eyetengeredde atakyalina ky'atya

Rema akangudde ku Doboozi agambye kati mukazi eyetengeredde atakyalina ky'atya

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2019

Rema akangudde ku Doboozi agambye kati mukazi eyetengeredde atakyalina ky'atya

Tip1 703x422

Rema Namakula ku mukolo gw'amatikkira ga maneja we Kayemba Solo

REMA olwamuwadde akazindaalo, yasoose kuyimba oluvannyuma n’ayogerako eri abantu. Yatandikidde mu kwebaza maneja we olw’amagezi ge yamuwa okwekolerawo akantu akake ng’omuntu “akeekikazi” k’alinako obwannannyini! Oluvannyuma n’alyoka agamba nti, “Kati ndi mukazi eyeetengeredde, sikyalina kye ntya. hhnj

” Mu kiseera ekyo Rema Namakula yali mufumbo ewa Eddy Kenzo era ekimu ku bintu Kenzo bye yayogerako ebyamutabula ne Rema kwe kuzuula amayumba “Maama Aamal” (Rema) ge yali azimbye kyokka nga “Taata Aamal” (Kenzo) talina ky’amanyi.

Rema yabadde ku mukolo gwa maneja we, Godfrey Kayemba ‘Solo’ eyatikkiddwa ddiguli mu Ndejje University era omukolo gwategekeddwa okuyozaayoza Kayemba ne banne okuli ne munnakatemba Wycliffe Luyombya abaamalirizza emisomo. Ku mukolo guno ogwabaddewo akawungeezi k’Olwokutaano ku Kenron Hotel ku luguudo lw’e Wakaliga mu Lubaga, Rema kwe yasinzidde okwogera ku biriwo wabula yeewaze okukoona ku linnya lya Kenzo oba erya bba omupya Hamza Sebunya eyakyadde mu bazadde ba Rema nga October 9, 2019 e Naggulu.

Rema mu kulambulula Kayemba by’amukoledde yagambye nti alina essanyu okuba nga yakwatagana ne Kayemba kubanga by’atuuseeko mu bulamu, bingi abifunye lwa maneja we oyo.

Yagambye nti ye mu bulamu bwe, Kayemba ye maneja yekka gwe yaakabeera naye mu bya bizinensi era amuyambye nnyo okumuzimba ng’omuyimbi omukyala okusobola okwetengerera.

Awo we yatuukidde ku kaama Kayemba ke yamukuba nti yeekolerewo akantu akake ng’omukazi mu ssente ze baali bakola mu bivvulu n’emikolo Rema kwe yayimbiranga.

Rema yagambye abaabadde ku mukolo nti: Nnina essanyuokubategeeza nti akantu ako akeekikazi nnakassaawo era kati nsobola okuyimirirawo nga nneetengeredde; sikyalina kye ntya.

Abaabadde ku mukolo baakubye enduulu ey’oluleekereeke ng’abamu naddala abakazi bwe bawaga nti, “Kyekyo bakakase….” Okuva omukolo gw’okukyala gubeerawo, Rema abadde asirise ng’eyali bba Kenzo yekka y’ayogera kw’ebyo ebyali ku mukolo naddala ekya Sheikh Nuuhu Muzaata okumulengezza nga n’omwana wa Kenzo Aamaal ali awo awulira.

Rema yakubirizza abakyala okubeera abatetenkanya n’okwekkiririzaamu baleme kutunuulira baami baabwe ku buli nsonga. Yakubirizza abakyala okwekolera n’okuddayo okusoma, n’agamba nti naye alina enteekateeka eziddayo okusoma.

Yagambye nti abakyala beetaaga abantu ababazzaamu amaanyi n’awa ekyokulabirako kya Kayemba bwe yamuzzaamuamaanyi mu 2013 nga yaakava mu Gagamel eya Bebe Cool n’amuwa amaanyi agategeka ekivvulu, wadde nga Rema yalina ennyimba ntono ekiseera ekyo.

Abantu obwedda bamusaba ennyimba naddala olwa “Siri Muyembe” ezoogerwako nti zikoona Kenzo, wabula yagaanye okuziyimba n’ayimbamu olwa “Singa ssi mukyala” era oluvannyuma n’azzaayo akazindaalo ewa Particko Mujuuka eyabadde kalabaalaba w’omukolo.

‘KATI NDI MUKYALA MUFUMBO’ Rema bwe yabadde tannaweebwa kazindaalo, yazzizza Patricko ebbali n’amugamba nti ayagala ayimbe asobole okuddayo eka nga bukyali kubanga kati mukyala mufumbo.

Emikolo gya Rema egy’okwanjula Sebunya gyakubeerawo nga November 14, omwaka guno kyokka ebigambo bingi byogeddwa okuva omwezi oguwedde Rema lwe yafulumya kkaadi eziyita abantu ku mukolo nga mu be yayita mwe muli ne Kenzo gw’abadde amaze naye emyaka 5 mu bufumbo obutabadde butongole.

Omukolo gwetabiddwaako abantu bangi okwabadde bannakatemba, abasuubuzi, bannabyabufuzi, bannabyamizannyo okwabadde n’eyali Pulezidenti wa FUFA, Dr. Lawrence Mulindwa.

Abayimbi abaabaddewo kuliko Ronald Mayinja, Chris Evans Kaweesa, Dr. Hilderman Kiyaga, Wilson Bugembe, n’abalala. Mu bintu eby’ekikazi Rema bye yakola era Kenzo by’agamba ebyamunyiiza mwe muli amayumba (apartments) e Namugongo m

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza