TOP

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2019

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte

Lab2 703x422

Baddereeva nga bagezaako okuziba ebinnya omulegama amazzi mu Ppaaka.

BAddereeva mu Ppaaka Enkadde balaajanidde bekikwatako baveeyo babayambe ku mbeera ya ppaaka eno efuuse ekiraalo ky’ente.

Enkuba efudemba ennaku zino efudde embeera mu ppaaka eno okuba embi ebitagambika nga n’emmotoka naddala ku ludda lwa siteegi y’e Ntebe zituuse okutendewalirwa olw’ebinnya n’ebitoomi ng’abasaabaze tebalina we basobola kuyita.

Kino kigootaanyizza enkola y’emirimu mu baddereeva nga bagamba nti batuuse okuwalirizibwa okutandika okutikkira wabweru wa ppaaka olw’abantu okutya okuyingira mu ppaaka olw’ebisooto ate nga n’emmotoka ezimaze okutikka ziseerera.

Richard Ssemuju Tesco owa difensi ku siteegi y’e Ntebe yategeezezza nti embeera ya Ppaaka Enkadde yonna naddala ku siteegi yaabwe eyungula ezziga wadde nga bekikwatako bakyagaanye okuvaayo okubaako kye bakolawo ekibawalirizza nga bo abakolera ku siteegi eno okwekwatiramu omulimu ne basomba ebibbulooka okubiyiwa mu ppaaka basobole okufuna we bakolera emirimu nga bwe balinda gavumenti ebayambe.

Ng’oggyeeko baddereeva n’abantu abalala abakolera emmirimu mu ppaaka ng’abatunda ebyokulya nabo balaajana olw’okuba nti tebakola lwa nsonga abantu ababagulako tebasobola kuyingira mu ppaaka olw’embeera gy’erimu.

Basabye bekikwatako baveeyo bakole ekisoboka okulaba nga babayiira kkolaasi mu ppaaka muno kuba nabo bawa omusolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...