TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2019

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Tip2 703x422

MAAMA alaajana oluvannyuma lw’agambibwa okuba omukozi w’awaka (yaaya) ku muliraano okubuzaawo bbebi we ow’emyaka 3 kati wiiki nnamba talabikako. Winfred Nuwahereza omutuuze w’e Nakulabye Zooni 7 y’ali mu maziga omuwala Sharon Nangobi 12, bwe yabuze ne mutabani we Rogers Lwanyaga.

Nuwahereza yategeezezza nti ku Mmande ya wiiki ewedde ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi, Nangobi yatwala omwana we bwe yali ali mu nnyumba era agenda okufuluma ebweru okubuuza omwana gy’ali baliraanwa be ne bamugamba nga bwe baamulabyeko ne Nangobi nga bafuluma mu mulyango gw’ekikomera ogw’emmanju ng’okuva olwo taddangamu kumulaba.

Agamba nti banoonyezza buli wamu era balanze naye omwana abuze. Nangobi ku Ssande akawungeezi yasooka n’atwala omwana ono Lwanyaga ku mukolo, ssentebe w’ekyalo gwe yali ategese era nnyina gye yamusanga n’amumuggyako nga tamanyi nti yalina enteekateeka ze okutuusa bwe yamulabirizza n’amubuzaawo ku Mmande.

Maama agamba nti baagenda ku poliisi okuli ey’e Nakulabye n’eye Kasubi ng’abe Kasubi be baabategeeza nti omuwala oyo waliwo omwami eyamukutte n’abatwala ku poliisi ku Mmande ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ne bamulagira abatwale awaka abakomyeewo enkeera.

Ono annyonnyola nti Nangobi bwe yalaba obudde bukedde kwe kutegeeza eyali abatutte nti baagala kugendako bweru kweyamba baayitamu buyisi ne babula. Abaserikale ku poliisi y’e Kasubi baabagamba nti Nangobi bwe baamubuuza gy’abeera yabategeeza nga bw’abeera e Jinja babadde baliko we bazze ne baaba waabwe n’ababulako, kyokka nga yali akimanyi bulungi nti babeera Nakulabye.

Fatuma Masubi, Nangobi w’abadde akolera yategeezezza nti Nangobi muganda waabwe nga yava mu kyalo e Jinja ne bamuleeta okubeera naye nga bw’abayambako ku mirimu nga babadde baakamala naye emyezi munaana.

Kyokka nabo tebamanyi kigendererwa kye mu kugenda n’omwana kuba tewali wadde obuzibu obwabaddewo nga baagezezzaako okumunoonya ne mu kyalo gye baamuggya nebabagamba nti tebamanyi gy’ali.

Slyvia Nanfuka nga naye mupangisa ku nnyumba Nangobi kwe yaggye omwana yategeezezza nti Nangobi ku lunaku lw’atwala omwana ono yasooka kwagalakutwala wuwe ng’amusabye okumumusitulirako n’agaana.

Brenda Namwanje omukulembeze w’abakyala mu Nakulabye zooni 7 yategeezezza nti bakyasobeddwa ekigendererwa kya Nangobi kuba singa abadde yabula bubuzi tewali nsonga lwaki bwe baamutuusa ku poliisi yabalimba. Teyakoma okwo n’agaana n’okubabuulira nti abeera Nakulabye n’abuzaabuza abaserikele n’okutolosa omwana awaka w’omwami eyali abakutte ekiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...