TOP

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2019

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Top2 703x422

Esaku ku (ddyo) ne Ssali ku poliisi y’e Namasuba.

POLIISI ya Kikumbi mu Divizoni ya Bunnamwaya ng’eri wamu ne ofiisi ya DISO wa Makindye Ssaabagabo, Capt. Edith Namala baakutte abasajja abagambibwa nti babadde bamaze emyaka ebiri nga bafera abantu ne babaggyako ssente nga beerimbise mu kubafunira emirimu ebweru.

Pius Esaku n’agambibwa okuba omuwandiisi we, Ivan Ssali be baakwatiddwa ku Lwokubiri okuva ku ofiisi z’ekitongole kyabwe ekya Forwad International ekisangibwa e Nyanama ne batwalibwa ku poliisi ya Kikumbi gye baggyiddwa ne batwalibwa ku poliisi y’e Namasuba.

Okusinziira ku Justine Nakazzi omu ku baaferebwa, natuukirira abantu bano nga njagala mugandawange Joseph Nsubuga agende ebweru era baatusaba ensimbi obukadde buna n’ekitundu kwe kubawaako 700,000/-, kyokka waayita akabanga ne batandika okutupeeka ssente ezaasigalayo, era bwe twabategeeza nga bwe tutannazifuna kwe kuwamba paasipooti ya Nsubuga ne bamala emyezi ebiri ng’amasimu gaabwe tegaliiko songa ne ofiisi zaabwe ziba nzigale.

Nakkazi agamba nti yasitukiramu n’agenda ku poliisi y’e Kikumbi n’aggulawo omusango ku fayiro 09/15/10/2019 era agamba oluvannyuma lw’okubakwata yasobodde okufuna paasipooti ya muganda we wabula ayagala ne ssente zaabwe 700,000/- bazibaddize. Okusinziira ku atwala poliisi ya Namasuba, David Tumwesigye, bano baakutwala ku poliisi ya CPS mu Kampala gye bagenda okuwerennemba n’ogw’obubbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...