TOP

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2019

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Pap2 703x422

Bp. Matovu (mu gganduula) n’abayizi abassiddwako emikono n’okusabirwa. Emabega mu ttaayi ye nnannyini ssomero, Ronald Mpagi.

OMULABIRIZI wa Central Buganda eyawummula, Jackson Matovu asabye abayizi okuba abagumiikiriza mu buli kye bakola kibayambe okutuuka ku buwanguzi.

Bp. Matovu yagambye nti abaana bangi tebatadde bugumiikiriza mu bye bakola ekibaleetedde okufuna okusoomoozebwa mu bye bakola ne balemwa okutuukiriza kye babasuubiramu.

Okwogera bino, Bp. Matovu yabadde ku ssomero lya Good Times Infant School Kawaala ng’ateekako abaana emikono n’okusabira aba P7 Mukama abasobozese okukola obulungi ebibuuzo byabwe ebisembedde. Yasabye abayizi obuteerabira babayambye kutuuka ku mutendera gwe baliko. “Okutuuka wano we mutuuse wabaddewo okusoomoozebwa kungi naye temuleka kwebaza abo ababayambyeko.

Mbasabira buwanguzi mu bibuuzo bye mugenda okukola mubiyitire waggulu,” Bp. Matovu bwe yategeezezza. Yakutidde abayizi okuba n’obumu mu buli kye bakola ate nga bafaayo okwebuuza n’okuzuula ebipya kibayambe okuba abamanyi.

Omutandisi w’essomero lino, Ronald Mpagi yategeezezza nti omulimu gwabwe bagukoze nga kati balinze bayizi kubalaga kye basomye mu myaka 7 era babasuubiramu ebirungi bingi.

Yagambye nti ku lunaku lwe basabira aba P7 era basalawo okuteekako abaana emikono kiyambe abaana okusoma ate nga batambulira mu makubo amatuufu aga Mukama ate nga batuukiriza buli mutendera mu ddiini.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...