TOP

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa

By Lilian Nalubega

Added 21st October 2019

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera olw'okulya enguzi

Kkobewebuse 703x422

Collin Kayiwa (owookusatu ku ddyo) ng'asala keeki ne banne ku kabaga akamukoleddwa okumukulisa emisomo

Bya Lilian Nalubega

Omukulu w'ekika ky'ekkobe, Omutaka Augustine Kizito Mutumba Nnamwama akkaatirizza obukulu bw'okusomesa abaana ku mitendera egy'enjawulo n'agamba nti, kino tekiganyula asomye yekka ne bakadde be wabula eggwanga lyonna.

 namwama utumba ngauogera ku mukolo Nnamwama Mutumba ng'auogera ku mukolo

 

Mutumba yasinzidde ku mukolo gw'okwebaza Katonda olw'omwana Collins Kayiwa okufuna diguli mu ssomo lya Procurement and Logistics Management okuva mu yunivasite e Ndejje. Yategeezezza nti, eky'okusomesa abaana gwe mulanga Ssaabasajja Kabaka gw'akulembeza bulijjo nga kigwanidde abazadde okukissa mu nkola bagunjule eggwanga.

“Kya buvunaanyizibwa abazadde okumanya ebirungi ebiri mu kusomesa abaana amasomo g'ebyemikono kubanga abagasoma tebejjusa ate nga n'ebiseera ebisinga tebabulwa mirimu olw'obukugu bwe bafuna,” Nnamwama Mutumba bwe yagambye.

Bazadde ba Kayiwa nga bakulemberwamu kitaawe Henry Ssenjobe baakubye abayizi abaamaliriza emisomo akaama nti, bwe baba baagala okufa nga basanyufu balina okwewala okufiira ku mirimu gy'okukozesebwa.

 assenjobe bazadde ba ayiwa wakati nga bali ku kabaga ka mutabani waabwe Bassenjobe bazadde ba Kayiwa (wakati) nga bali ku kabaga ka mutabani waabwe

 

"Okukozesebwa n'okaddiwa ng’okozesebwa ofa oli mukopi era omwavu. Mulowooze ku ky'okwekozesa nga mukyali mu myaka emito eby'okulowooleza mu mirimu gy’okusasulwa omusaala omugereke tebiggya kubagasa mpozzi nga mwagala kukomekkerereza mu kkomera nga mulidde enguzi," abazadde bwe baagambye.

Kayiwa yeebazizza bakadde be okumusomesa era n'asuubiza okukola abasasule.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...