TOP

Poliisi ekutte abazigu 9 n’emmundu 4

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2019

POLIISI egudde ku kabinja k’abazigu akalala akabadde katigomya ebitundu bya Bwebajja ne Ntungamo n’ekwatako mwenda n’okuzuula emmundu nnya ze babadde bakozesa.

Everywarlordsfavouriteassaultrifleisgettingrebranded324bodyimage1417556752 703x422

POLIISI egudde ku kabinja k’abazigu akalala akabadde katigomya ebitundu bya Bwebajja ne Ntungamo n’ekwatako mwenda n’okuzuula emmundu nnya ze babadde bakozesa.

Okugwa ku kabinja kano kyaddiridde poliisi okukwata Gerald Nsubuga ng’ono y’omu ku baalumba amaka ga Joshua Allan Mwesigwa e Bwebajja nga October 10, 2019 ne babba ebintu.

Ono ye yaloopye banne olwo poliisi n’esitukiramu okubakwata. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti oluvannyuma lwa Nsubuga okuwaayo banne, abaserikale baakoze omuyiggo ne bakwata abalala okuli David Mawanda eyeeyita Kisekka ne Kennedy Nkesiga.

Bano be baawaddeyo bannaabwe abatigomya ab’e Ntungamo.

Enanga yagambye nti abaserikale ba poliisi eyaabulijjo nga bayambibwako aba Flying Squad baagenze e Ntungamo ne bakwata abasajja mukaaga.

Bano baasangiddwa n’emmundu bbiri ssaako ppikippiki n’obukookolo bwe bambala okukweka ffeesi zaabwe nga bakola misoni zaabwe ez’okubba.

Abakwatiddwa e Ntungamo kuliko; Augustine Tumwine, Rogers Kalenzi, Obadia Nuwagaba, Fred Bahati, Brian Mbogo ne Sam Nkuruziza.

Ono alina amaka mu Kampala, Sembabule ne South Afrika. Baamusanze n’emmundu emu egambibwa okuba nga yagiggya Congo.

Enanga yagasseeko nti abasajja bano poliisi ebalinako obujulizi nti be beenyigira mu bunyazi obwaliwo nga September 10, ne 25, 2019 mu bitundu by’e Ntungamo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...