TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga eyakubiddwa essasi afudde anoonyezebwako ku misango gy'obutujju

Omugagga eyakubiddwa essasi afudde anoonyezebwako ku misango gy'obutujju

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2019

Omwaka oguwedde, Jabar Alseyed yakwatibwa abajaasi b’ekitongole kya CMI ng’ateeberezebwa okubaako ky’amanyi ku by’obutujju. Baamwaza n’asangibwa ne pasipooti ssatu ez’amawanga agenjawulo nga yonna alinayo obutuuze.

Panda 703x422

Jabar Alseye

Yaggulwako emisango emirala okuli okubba ssente, obutujju, obukumpanya. CMI yamuggalira okumala ennaku ne bamukwasa ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli gye baamuyimbulira ku kakalu ka poliisi.

Azze aggulwako emisango okuli poliisi y’oku kisaawe e Ntebe eyamuggulako egy’okubba ddoola 150,000.

Ekiragiro ekikwata Alseyed kyateekebwako omukono gwa Delley Jonson Ola akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala n’emiriraano.

Mu August wa 2017, eyali amyuka dayirekita wa poliisi y’ensi yonna, Elly Womanya yawandiikira poliisi e Tanzania okukwata Alseyed eyali ateeberezebwa okuba mu nsi eyo oluvannyuma lw’okubulankanya ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...