TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebibuuzo ebikyebuuzibwa ku nfa y'omugagga Alseyed Ali Abdul Jabar

Ebibuuzo ebikyebuuzibwa ku nfa y'omugagga Alseyed Ali Abdul Jabar

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2019

AMAZE ekiseera ng’atambulira mu kutya. Emirundi mingi wadde alina emmotoka nnyingi awaka, abadde azirekawo n’atambulira ku boodabooda.

Tta 703x422

Ku by’omuwala eyamukubye essasi, ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, Zaina Karama yasoose kuzirika kyokka eggulo yafunye amaanyi.

Poliisi yamugguddeko omusango ku fayiro CRB 309/2019 gwe yagguddewo. Era waakuggyibwako sitetimenti annyonnyole ebyabaddewo.

Kyokka, ebibuuzo ku nfa ya Jabar byeyongedde oluvannyuma lw’abakugu mu poliisi okwekkaanya we baamukubidde essasi.

EBIZUUSE KU KUTTIBWA KWA JABAR EBIMU KU BYEBUUZIBWA

  • Emmundu eyakubye UG IND BONK 444 03175. Glock pistol Alseyed yagifuna mu wiiki bbiri zokka.
  • Enkuba gye yakubiddwamu essasi wadde kigambibwa nti lyamukubye mu butanwa.
  • Lwaki omuwala atakwatanga ku mmundu era yakubye mu kifuba ku mutima.
  • Obunafu obwalagiddwa olwo Jabr n’ayingiza emmundu mu ddwaaliro ery’ekikungu erikuumibwa nga tayaziddwa?
  • Ddereeva we yagambye nti yamukubidde essimu amutwale mu ddwaliro kyokka essimu gye yazzeemu okufuna yabadde ya mukazi we ng’amutegeeza nti bba akubiddwa essasi. Yagenze atya mu ddwaaliro nga ddereeva gwe yakubidde okumunona amulese mabega?
  • Poliisi yebuuza oba ddala essasi lyakubiddwa mu butanwa oba gwabadde “mupango”
  • Kiyinzika okuba nga yabadde talina bukugu bwayo ekyavuddeko okugiraga mulamu we mu ngeri y’okweraga n’atuuka n’okugimuwa naye agizannyise?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img3741webusejpgbizigo 220x290

Okubeera mu kyalo teking'aana kuyiiya...

Nagaana okulinda sizoni y'ebirime ne ntetenkanyiza mu kukola sabbuuni n'ebizigo mpone okusabiriza omwami

Kalagi21webuse 220x290

Abasuubuzi b'omu Kalagi beeraliikiridde...

Kasasiro atuuse okulwaza bakasitoma be tuguza ebyokulya ate n'endwadde teziggwa mu baana

Untitled5 220x290

Akawuka ka siriimu tekannemesezza...

EMYAKA 23 agimaze n’akawuka mukenenya. Embeera eno mw’awangulidde engule z’obwannalulungi bbiri n’avuganya ku bwannalulungi...

Ssegu 220x290

Omukozi asaze omwana wa nkubakyeyo...

POLIISI e Mubende ekutte omukazi Rose Kansiime ow’e Kiseekende alabirira abaana abato ku ssomero lya Golden Dove...

Yagala1 220x290

Beeyiye mu kimeeza kya Bukedde...

ABANTU ab’enjawulo bakedde kweyiwa ku kitebe kya Bukedde okwanja ebizibu n’okusaba okuyambibwa ku ngeri gye basobola...