TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi erambuludde engeri gy'okufunamu emmundu n'enkozesa yaayo

Poliisi erambuludde engeri gy'okufunamu emmundu n'enkozesa yaayo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2019

OLUVANNYUMA lw’omugagga Ali Jabar okuyingira n’emmundu mu ddwaaliro lya Kampala Independent Hospital n’agikwasa mulamu we eyamukubye essasi n’afa, tutunuulidde amateeka agafuga emmundu, engeri gy’ogifunamu n’engeri gye weeyisaamu ng’oli nayo.

Tta 703x422

Emu ku mmotoka za Jabar

Assan Kasingye avunaanyizibwa ku kitongole ekikwanaganya poliisi n’omuntu waabulijjo agamba nti etteeka ku mmundu ligamba nti: Omuntu bw’aweebwa emmundu, alina kugikozesa ng’ali yekka.

Tateekeddwa kugenda ng’akaalakaala nayo mu bifo bya lukale kuba bivunaanyizibwako poliisi.

Ku kyatuuse ku Jabar, yakoze nsobi okugiggya mu mmotoka ye okugitwala mu ddwaaliro.

Erina okubeera mu makaago oba emmotoka yo. Ebifo ebirala okuli ppaaka, ekkanisa, super maketi, obutale, amalwaliro toteekeddwa kugiggyayo.

Ssinga omuntu eyaweebwa emmundu oyo afa, aba famire balina kugizza ku poliisi etteeka terikkiriza mulala ataagiweebwa.

Yayongedde nti alina emmundu alina kugikozesa mu mbeera ng’ali mu bulabe nnyo.

Ate looya wa poliisi James Kusemererwa yagambye nti omuntu bwe bakkiriza okumuwa emmundu, basooka kumutendeka era wano we bamutegeereza engeri y’okugikuumamu n’okugikozesa.

Yayongeddeko nti terina kuva mu mikono gyo era buli agiraga mu bantu aba akoze nsobi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Lucas Owoyesigyire yagambye nti ebifo byonna eby'olukale birina okubaako ebifo bibiri; ekiyingiza emmotoka n'awayita abantu.

Mu bifo bino byonna kulina okubaako abantu abakebera n'ebikozesebwa.

Yagasseeko nti mu bifo bino, ne bw'aba muserikale nga tali ku mulimu, alina okukeberebwa n'emmundu ye n'agiwandiisa mu kitabo ekibaawo n'agirekera abakuumi.

Okuggyako omuserikale alina ebbaluwa ng'emwanjula ng'ali ku mulimu okugeza ng'azze kubaako by'ayaza.

Yagambye nti ku nsonga ya Jabar abakuumi babadde bamumanyiizizza amaaso ne batmwaza ekintu ekikyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...